Ochola awummudde n’awaayo ofiisi y’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola awummudde emirimu ofiisi n’agikwasa abadde omumyuka we, Maj. Gen Godfrey Tumusiime Katsigazi.

Ochola ng’akwasa Maj. Gen. Katsigazi Tumusiime ebintu by’abadde akozesa ng’omuduumuzi wa poliisi mu ggwanga .
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Ochola #awummudde #awaayo #offiisi

Bya Hannington Nkalubo ne Eria Luyimbazi

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola awummudde emirimu ofiisi n’agikwasa abadde omumyuka we, Maj. Gen Godfrey Tumusiime Katsigazi.

Kino kiddiridde kontulakiti ya Ochola ey’emyaka esatu okuggwaako n’etazzibwa buggya era eggulo yakwasizza Katsigazi ofiisi mu lukiiko lw’abakulira ebitongole bya poliisi oluyitibwa Police Advisory Council ( PAC).

Bwe yabadde asiibula, Ochola yagambye nti poliisi agiweerezza okumala emyaka 36 okuva lwe yagyegattako mu January 1988 era nga aweerezza mu ofiisi za poliisi ez’enjawulo ng’ayise mu mitendera egy’enjawulo okutuuka ku ofiisi y’omuduumuzi wa poliisi.

Yagambye nti ebbanga ery’emyaka omukaaga ly’amaze ng’omuduumuzi wa poliisi atumbudde n’okulongoosa ekifaananyi kya poliisi nga ebintu ebibadde bisoomooza naddala effujjo, n’okwekalakaasa abadde abikendeezezza.

Ochola yagambye nti nga January 3, 2024 yawandiikira Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga, Gen. Kahinda Otafiire n’amusaba amukkirize aleme kuzza buggya kontulakita ye kuba alina ensonga ze ez’obuntu z’ayagala okukolako nga tali mu mirimu gya poliisi.

Yayanjudde ezimu ku nsonga omuli ez’amaka z’alina okwenyigiramu obutereevu.

Yasabye emirimu gy’alese ku mmeeza naddala ogw’okuzimba ekizimbe ky’ekitebe kya poliisi kyatandise n’emirimu emirala era egibadde gisoomooza poliisi nti gitwalibwe mu maaso.

Ochola yalondebwa ku kifo ky’omuduumuzi wa poliisi mu ggwanga mu March 2018 ng’adda mu bigere bya Gen. Kale Kayihura gwe yali amyuka.

Katsigazi abadde yakwasibwa obuvunaanyizibwa obwenjawulo mu poliisi era omwaka oguwedde yatandika okulambula ebitebe bya poliisi okwetooloola eggwanga n’awa ebiragiro ebitaddibwamu.