OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga Abas Byakagaba akoze ekyukakyuka mu baserikale ezizizaayo ACP Norman Musinga mu kitongole ekivunanyizibwa ku biddukka n'amufuula amyuka akikulira.
Enkyukakyuka zino zirangiriddwa ku Lwokusatu nga January 8 2025 nga zakutte ku baserikale 7 ababadde bakolera mu ofiisi nébitundu byénjawulo nga kati basindikiddwa okolera mu bitundu ebirala.
Guno mulungi gwa kusatu nga Norman Musinga addayo okukolera mu kitongole kyébidduka nga yasooka okukoleramu nga yakafuluma okuva mu ttendekero lya poliisi e Kabalye mu 2008 oluvanyuma n'afuuka omuduumuzi wa poliisi ya CPS bweyava awo n'asindikibwa okuduumira poliisi e Mitooma ne Kiruhura.
Mu 2014 Musinga yakomezebwawo mu kitongole kya poliisi yébidduka nga avunanyizibwa ku bikwekweto oluvanyuma n'afuulibwa aduumira poliisi yébidduka mu Kampala némirirwano ngadda mu bigere bya Lawrence Nuwabiine kati akulira ekitongole kino...
Mu 2021 eyali omuduumuzi wa poliisi Okoth Ochola yasindika Musinga okuduumira poliisi mu kitundu kya Rwenzori West (RPC)oluvanyuma n'asindikibwa okuduumira poliisi mu kitundu kya Rwizi gyeyaggyiddwa n'asindikibwa okuduumira poliisi mu kitundu kya Busoga East.
Nga Janaury 8 2025 Omuduumuzi wa poliisi Abas Byakagaba yamuzizzaayo mu kitongole kyébiduuka okumyuke akulira ekitongole kino.
Abalala abakyusiddwa mu nkyukukakyuka ezikoleddwa kuliko AIGP Geoffrey Musana eyasindikiddwa okuwerereza ku kitebe kya Uganda mu South Sudam mu kibuga Juba nga abaddeyo SCP Moses Sakira yakomezeddwayo n'afulibwa amyuka akulira ekitongole ekivunanyibwa ku kukunoonyereza nókutekerateekera poliisi ( Research and Planning) SCP Timothy Halango abaddeyo yasindikiddwa okumyuka akulira ekitongole ekivunanyibwa ku mbeera zábaserikale.
CP Phillip Acaye abadde amyuka akulira ekitongole kivunanyibwa ku bidduka yasindikiddwa okukulira poliisi evunanyibwa ku byóbulimi ate abaddeyo CP Charles Ssebambulidde yasindikiddwa mu kitongole ekivuanyibwa ku kugulira poliisi ebikozesebwa ngómu kubamyuka.
CP Ben Mubangizi abadde akulira ebikwekweeto mu kitongole kya poliisi yébidduka yasindikiddwa okukolera ku kitongole kya Uganda mu Algeria mu