EMISANGO egyaloopebwa ku poliisi omwaka oguwedde, gyakendeera okuva ku 231,653 mu mwaka gwa 2022 ne gidda ku 228,074.
Ku gino, emisango 84,907 gyatwalibwa mu kkooti , 48,632 tegyeyongerayo mu kuginoonyerezaako, 94, 535 gikyanoonyerezeebwako naye ku gyo, 27,125 abaagizza basibibwa so ng'ate 843 baayimbulwa ate ng'emirala 46,843 gikyali mu kkooti.
Ku misango gino, abantu 104, 088 baakwatibwa era ku bano, 94,622 baali basajja, 6,509 baali bakyala, 2,657 baana balenzi ate 300 baali bawala.
Bino byonna biri mu alipoota ya poliisi ey'obumenyi bw'amateeka { Annual Police Crime Report } 2023 efulumiziddwa omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola , ku kitebe kya poliisi e Nagguru leero.
Mu kwogera kwe, akulira ekitongole kya CID, Maj. Tom Magambo, ategeezezza nti egimu ku misango egyakendeera mu mwaka oguwedde, mulimu obutabanguko mu maka, nga gino gyali emisango 14,681 bw'ogerageranya n'egyaloopebwa mu 2022 egyali 17, 533.
Emisango emirala egyakendeera, kuliko obutalabirira baana, n'okulumya. So ng'ate emisango omuli okwonoona ebintu by'abantu , okubba pikipiki, obubbi, okubba ssente, obubbi bw'amasimu, gye gimu ku misango egyeyongera nga kuno kw'ogasse n'egy’obutujju.
Ategeezezza nti ekimu ku byaleetera emisango okukendeera, mwe muli okutendeka abaserikale mu nkola y'emirimu gyabwe, okwongera okulongoosa ebifo mwe bakolera emirimu ne gye basula, n'okubafunira ebikozesebwa.
Akuutidde Bannayuganda, buli omu okubeera omusaala, mu kulwanyisa obumenyi bw'amateeka era n'asaba abazadde okwongera okubuulirira abaana baabwe, bakule bulungi.