Enteekateeka z’ekijaguzo kya Munsennyooli Kalumba Eky’emyaka 50 mu Busaserdooti Zitandise

Enteekateeka z'ekijaguzo kya Bwanamukulu w'ekigo kya Yezu Kabaka, Munsennyooli Gerald Kitatta Kalumba eky'emyaka 50 mu Busaserdooi zitandise. Zagguddwawo n'ekijjulo eky'okusonda ssente z'omukolo, ekyabadde ku Protea Hotel mu Kampala ku Lwokusatu nga October 30, 2024

Entekateeka z'ebikujjuko
By Mathias Mazinga
Journalists @New Vision

Enteekateeka z'ekijaguzo kya Bwanamukulu w'ekigo kya Yezu Kabaka, Munsennyooli Gerald Kitatta Kalumba eky'emyaka 50 mu Busaserdooi zitandise. Zagguddwawo n'ekijjulo eky'okusonda ssente z'omukolo, ekyabadde ku Protea Hotel mu Kampala ku Lwokusatu nga October 30, 2024. Ekijjulo kino kyetabiddwako abantu bangi, okw’abadde Abakristu b’ekigo kya Yezu Kabaka, n’ab’oluganda n’abemikwano gya Munsennyooli Kalumba. Abantu bangi baatonye ssente mu buliwo, ate abalala nebawa obweyamo.

Abamu kubaatonye kwabaddeko Dr Emmanuel Katongole eyawaddeyo obukadde 5, Abakristu abakolera mu Bank of Uganda (obukadde 3), Abakristu abakolera mu FUFA (obukadde 2), Franciscan Choir (obukadde 5), Mikwano gya Faaza Yakobo Ssebayigga (obukadde 5), Pax Insurance (obukadde 2), Centenary Bank (obukadde 5), Agnes ne Felix Nsimoomwe (obukadde 2 nekimeeme w’embuzi), Alex Isagara (akakadde 1), Joseph Balikuddembe (akakadde 1).

Ebikujjuko

Ebikujjuko

Abalala abaatonye kwabaddeko bammemba ba Christ the King Workers Credit Scheme (obukadde 2), ab’Ejje lya Biikira Maria (akakadde 1), Catholic Centenary Memorial Choir (akakadde kamu n’ekitundu), Yinginiya Kalule (obukadde 2), Patrick Birungi (obukadde 4), Bernard Ochola (akakadde 1), Dr Christopher Ndoleriire nebammemba ba famire abalala abakola ogw’obusawo (obukadde 6), Mwami Charles Mbiire (obukadde 5), Mwami Deo Kasozi Walukaali nga ye ssentebe w’lukiiko oluteesiteesi (obukadde 4), Parliamentary Chaplaincy, Catholic Lawyers Association, Matheresa Microfinance, n’abalala bangi.

Msgr Kalumba y’asiimye nnyo Abakristu, ab’oluganda n’ab’emikwano olw’omukwano gwebaamulaze. Y’ategeezezza nti ye eby’okujaguza yali tabifuddeeko, kyokka Abakristu ngabakulemberwa Mwami Deo Kasozi Walukaali nebamusaba bamutegekere omukolo era yali tayinza kubatenguwa, bw’atyo n’abakkiriza bakole kyebaagala.

Y’asiimye nnyo Abakristu olw’engeri gyebaagalamu eddiini, n’ategeeza nti okwagala n’okunyiikira kwebalaga naye kwekumuwa amaanyi okuweereza.

 “Temuyinza kukeera mu Klezia ku ssaawa 11 ez’okumakya ate nze nensigala nga neebase mu buliri. Awo mbeera nfuuse Ssemugayaavu. Mwebale nnyo okwagala eddiini yaffe era mugende mu maaso,” Munsennyooli Kalumba bweyategeezezza.

Aboogezi bangi okwabadde Ronnie Kasozi ne Alex Arinaitwe baatenderezza nnyo Munsennyooli Kalumba olw’obukulembeze bwe obulungi obujjudde amagezi, obukkakkamu n’okwagala abantu. Baamutederezza nnyo n’olw’engeri ey’amagezi gyeyatambuzaamu pulojekiti y’okuzimba Klezia ya Yezu Kabaka empya, n’esobola okuggwa ng’Abakristu tebakaluubiriziddwa muby’ensimbi, sso ng’ate y’afuna okusoomozebwa kungi, omwali n’omuwendo gw’okuzimba okwekubisaamu emirundi ebiri, okuva kubuwumbi bw’ensimbi za Uganda 9 okutuuka ku 25.

Mukuddamu, Munsennyooli Kalumba y’ategeezezza nti ye tayagalira ddala kukozesa ssente zitali zize, oba okukozesa obubi ssente za Klezia w’Omukama.

Omukolo gw’ekijaguzo gw’akubeerawo nga May 17, omwaka ogujja (2025). N’olwekyo okyalina omukisa Munsennyooli Kalumba okumuwagira.

Ssente oyinza okuziweeereza ng’okozesa Mobile Money.