Aba UYD bawabudde Museveni obutaddamu kulonda munnamagye kukukembera Poliisi

ABA DP bawabudde omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni obutalonda bannamagye kukulembera poliisi kubanga ne poliisi erina abantu abalina obusobozi okugikulembera.

Aba UYD bawabudde Museveni obutaddamu kulonda munnamagye kukukembera Poliisi
By Racheal Nakiwala
Journalists @New Vision
#DP #Ochola #Katsigazi #Museveni #Poliisi

ABA DP bawabudde omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni obutalonda bannamagye kukulembera poliisi kubanga ne poliisi erina abantu abalina obusobozi okugikulembera.

Akulira ekiwayi ky'abavubuka ekya UYD mu kibiina kya DP Ismail Kiirya bw'abadde mu lukungaana lw'abamawulire ku kitebe kya DP ku City House mu Kampala asiimye obuweerezza bwa Ochola N'emyaka gy'amaze mu poliisi.

Kiirya ategeezezza nti Ochola abadde kyakulabirako kirungi mu poliisi kubanga avudde wansi nga aweerezza mu poliisi okutuusa bw'atuuse ku ddaala lya ssaabadumizi ate n'akola bulungi.

Kiirya ategeezezza nti entendeka y'ab'amagye ya njawulo nnyo ku y'abaserikale ekitegeeza nti Museveni alina okulonda omuserikale mu bwangu okukulembera baserikale banne kubanga abamagye enkola yaabwe ya njawulo nnyo.

Kiirya era awabudde Maj. Gen. Katsigazi Tumusiime abadde amyuka ssaabaduumizi poliisi naye nga kati y'akola nga ssaabaduumizi wa poliisi ow'ekiseera okusigala nga akola bulungi ekiseera ky'anaabeerera mu ofiisi eyo okukuuma omukululo Ochola gw'alese.