Ochola awaddeyo ofiisi oluvannyuma lw'okuweereza ebisanja bibiri

Omukolo ogwetabiddwako abantu ab'enjawulo, gubaddewo leero ku kitebe kya poliisi e Nagguru.

Ochola awaddeyo ofiisi oluvannyuma lw'okuweereza ebisanja bibiri
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Ochola #Ofiisi #Kuwaayo

Abadde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola, awaddeyo ofiisi ye eri omumyuka we, Maj Gen. Tumusiime Katsigazi.

Omukolo ogwetabiddwako abantu ab'enjawulo, gubaddewo leero ku kitebe kya poliisi e Nagguru.

Ekisanja kya Ochola kiweddeko leero oluvannyuma lw'okuweereza  ebisanja bibiri mu ofiisi eno.

Ochola era yaliko omumyuka w'omuduumizi wa poliisi olwo nga Gen. Edward  Kayihura ye muduumizi.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti omukolo gw'okuwaayo ofiisi gugenze bulungi era nga balindirira agenda okumuddira mu bigere.