Bya Eria Luyimbazi
OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga, Martins Okoth Ochola ayisizza ekiragiro ekikugira abaserikale okumala kakuba masasi awatali nsonga ematiza .
Kino kiddiridde okuggula emisago gy'obutemu ku baserikale babiri okuli; Elvis Muhumuza ne Evelyen Akello abaali bakolera wansi w'ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'enguudo ku UNRA oluvannyuma lw'okukuba mmotoka amasasi ne gakwasa omukazi Viola Nansereko eyafiira mu ddwaaliro e Mulago gye yafiira.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti omuduumuzi wa poliisi mu ggwanga okuvaayo n'ayisa ekiragiro ky'ava ku kukuba nti abaserikale bano abaali batambulira mu mmotoka namba UBJ 885 Q ey'ekitongole kya UNRA okusanga mmotoka nnamba UAJ 758D eyali evugibwwa Eria Twase Tamale ng'esimbye ku luguudo ng'ali ne mukazi we Nansereko ne mutabani waabwe Louis Kawuki.
Yagambye nti omuserikale Akello yagenda ku mmotoka eno wabula Tamale n'agisimbula kyokka munne, Muhumuza n'agisindirira amasasi agaakwasa Nansereko mu liiso n'addusibwa mu ddwaaliro e Mulago gye yafiira oluvannyuma.
Yategeezezza nti Muhumuza amasasi yagawerekereza mmotoka mu ngeri eyekyeyonoonero awatali kusooka kumanya ogubadde ate nga teyakuba mipiira gya mmotoka nga bwe kiteekeddwa okuba ekyavaamu okulumya abantu.
Yagambye nti abaserikale bano bagguddwaako omusango gw'okutta omuntu n'okugezaako okutta omulala ng'esaawa yonna baakusimbibwa mu kkooti bavunaanibwe.