Amawulire

Obwa Kabaka bwa Buganda bwesammudde eby'okutunda ettaka okutudde ennyanja ya Kabaka

OBWAKABAKA bwa Buganda bwesamudde eby'okutunda ettaka ly'ennyanja ya Kabaka esangibwa e Ndeeba mu ggombolola ye Lubaga.  

Ow'ekitiibwa Israel Kazibwe Kitooke
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

OBWAKABAKA bwa Buganda bwesamudde eby'okutunda ettaka ly'ennyanja ya Kabaka esangibwa e Ndeeba mu ggombolola ye Lubaga.
Ebigambo bino, Obwakabaka buwulidde nti bigamba nti lyatundibwa n'okuguzibwa abantu ab'enjawulo omuli n'Omusumba Robert Kayanja owa Kayanja Ministries nebugamba nti bino ebyoogerwa si bituufu.

Mu kiwandiiko ekitereddwako omukono Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nga kisomeddwa eri Bannamawulire e Bulange-Mmengo, Minisita w'amawulire Israel Kazibwe Kitooke, Obwakabaka bulaze nti buwulidde amaloboozi agoogera bino kyokka nga si kituufu. 

" Wawulikiseewo amaloboozi agagamba nti ettaka ly'ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba, lyatundibwa ne liguzibwa abantu ab'enjawulo omuli omusumba Robert Kayanja owa Kayanja Ministries. Ebyoogerwa ebyo si bituufu," Kazibwe bwasomye ekiwandiiko.

Annyonyodde nti "Obwakabaka bwawuliziganya ne Pr. Kayanja ku nsonga eno naye tetulina ntegeeragana yonna ntongole naye ku nnyanja era Obwakabaka bwa Buganda tebuguzanga muntu Mulala yenna ttaka  oba ekitundu ku ttaka ly'ennyanja ya Kabaka." 

Obwakabaka bweebazizza ekitongole Kya KCCA ekiri mu nteekateeka y'okulima oluguudo oluyitibwa 'Kabaka Lake Road' nebugamba nti lwakuyamba okutumbula eby'obulambuzi mu kino kino.
" Aba KCCA tubeebaza nnyo olw'enteekateeka eyo, gyetulowooza nti egenda kwongera ekitiibwa  ky'ennyanja n'okutumbula eby'obulambuzi mu kitundu ekyo, ng'abalambuzi n'abayise batuuka bulungi ku nnyanja ya Kabaka," Mayiga bwawandiise.

Ku nsonga z'abantu abeesenza  ku ttaka lino mu bukyamu, Obwakabaka bugambye nti bubamanyi kyokka enteekateeka z'okubasengula tezinaba era bwezinabeera zituuse, zijja kukolebwa okuyita mu kugoberera amateeka era abantu ne basabibwa okusigala nga bakakkamu. 
" Awo nno, tusaba abantu ba Buganda okubeera bakakkamu kuba ennyanja ya Kabaka, tetundibwanga era tewali muntu yenna yaweereddwa lukusa okugiddabiriza mu budde buno," Mayiga bwasabye. 

Ennyanja eno yasimibwa ku biragiro bya Ssekabaka Daniel Bassamulekkere Mwanga II mu 1885. Mu kiseera kino ky'ekimu ku by'obulambuzi ebikulu mu kibuga Kampala n'Obwakabaka bwa Buganda

Tags: