OBWAKABAKA bwa Buganda bukunze abantu baabwo okukulembeza eky’okuwereera abaana kubanga eby’enjigiriza byebigenda okukyusa obulamu bwaabwe ate n’okutumbula enkulakulana.
Okusaba kuno kukoleddwa Minisita wa Kabineeti,Olukiiko n’Abagenyi mu Buganda, Noah Kiyimba bwabadde atikkula abantu okuva ggombolola ez’enjawulo mu masaza okuli Ssingo,Buddu ne Busiro abazze embuga okuleeta oluwalo lwaabwe olwaleero.
Abatuuze be Bukomero nga bakwasibwa ekifananyi Kya Kabaka
“Abaana tubakuumire mu massomero. Bateekeddwa okusoma. Ffe singa tetwasoma,tetwandibadde wano nga Baminisita singa,tetwasoma. Abaana nga tubategekera,ekibeera ku mwanjo kwe kubateeka mu ssomero,” Kiyimba bwagambye.
Minisita Kiyimba era asinzidde wano n’akunga abantu okwongera okulima emmwanyi kyokka bakikole nga bwebagattako okulima emmere emala mu maka ate neeyo gyebasobola okutundako.
Ye Minisita w’amawulire n’okukunga abantu nga yabaddewo ku lwa Minisita wa gavumenti ez’ebitundu Joseph Kawuki ategezezza ng’okulaga embalirira n’enteebya y’engeri ensimbi z’oluwalo gyezikozesebwamu,kiyambye okujjumbisa abantu okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.
“Enteebya ekoze kinene mu kujjumbisa abantu ba Buganda okuleeta oluwalo. N’olwekyo buli nsimbi gyemuwaayo,tubalaga byezikola. Ziyamba mu kuddukanya emirimu mu Bwakabaka,ensisira z’eby’obulamu, okuyamba ku by’enjigiriza,” Kazibwe bwayogedde.
Minisita Kiyimba nga yeekubya ebifananyi n'abato aba Mukwenda Nursery school e Bukomero-Ssingo eryatandikibwa Obwakabaka
Ye Omubaka Omukyala owa Disistulikiti y’e Kiboga mu Palamenti, Christine Nakimwero Kaaya yeebazizza Obwakabaka olw’okuwa abantu b’ekitundu kye omukisa okwetaba mu kaweefube w’okubuzimba era neyeyama nti baakugenda mu maaso n’okwetaba mu nteekateeka zonna ezibangibwayo.
Peter Paul Kawooya y’akulembeddemu abantu okuva mu ggombolola y’e Mulagi e Ssingo ng’ali wamu ne Munnamateeka Haruna Umar Lukwago enzaalwa y'ekitundu nebaleeta oluwalo oluweze 3,150,000/-
Ensimbi ezisusse obukadde 40 ng’eggombolola endala okuli Kibiga 3,950,000/- okuva e Ssingo, Ndagwe- Buddu 4,671,200/-, Ekitundu ky’e Mbale mu Bugishu 1,000,000/-, Amassomero mu Mumyuka Wakiso 12,750,000/