Obuwumbi 30 ezitabudde Sarah Kizito ne Nyakana

WABALUSEEWO olutalo wakati wa Godfrey Nyakana eyali ssentebe wa Kampala Central n’eyali mukyalawe, Sarah Kizito nga buva ku buwumbi bw’ensimbi obugenda okubaliyirirwa ekitongole ky’enguudo ekya UNRA ku Centenary Park.

Obuwumbi 30 ezitabudde Sarah Kizito ne Nyakana
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

WABALUSEEWO olutalo wakati wa Godfrey Nyakana eyali ssentebe wa Kampala Central n’eyali mukyalawe, Sarah Kizito nga buva ku buwumbi bw’ensimbi obugenda okubaliyirirwa ekitongole ky’enguudo ekya UNRA ku Centenary Park.
UNRA eteekateeka okusala ekitundu ku ttaka lya Centenary Park eyiseewo oluguudo mu pulojekiti ya Kampala Fly Over. Ekitundu kino n’ebikiriko ,Gavumenti eteekwa okukisasulira bannannyini kyo. Enteeseganya wakati wa UNRA ne kkampuni ya Nalongo Estates Ltd. eya Sarah Kizito zimaze ebbanga nga zigenda mu maaso kyokka kigambibwa nti bwe zaatuuka ku mutendera gw’okusasula ssente ne ziyimirira.
Omwogezi wa UNRA, Allan Ssempebwa yategeezezza nti enteeseganya zaali zitambudde bulungi kyokka bwe zaatuuka ku ddaala nga Nalongo Estate eyagala Gavumenti egiriyirire obwannannyini bw’ettaka n’ebyobugagga ebiriko Gavumenti n’egaana ate ng’ayagala butitimbe bwa nsimbi.
“Twakizuula nti baali tebalina bwannannyini bwa liizi era ettaka nga lya Gavumenti. Twasalawo tubaliyirire ku byabugagga byokka bye balinako kyokka ne bagaana ne bagenda mu kkooti,” Ssempebwa bwe yagambye.
Yagasseeko nti, UNRA baagiwangula mu kkooti era omulamuzi n’alagira babaliyirire ettaka n’ebintu byonna bye balinako. Baddamu ne bateesa aba Nalongo bakkirize babaliyirire ssente za bintu byokka kubanga zo bazirina naye Nalongo akyagaanyi.
Mu kiseera kino aba UNRA bazzeeyo mu kkooti ne bajulira era omusango gukyagenda mu maaso kyokka nga n’enteeseganya bwe zigenda mu maaso.
Ng’oggyeeko Nalongo Estate okulemwa okukwatagana ne UNRA ku by’ensasula, ate ne Godfrey Nyakana, eyali bba wa Sarah Kizito naye asitudde enkundi ng’agamba nti naye alina okugabana ku ssente zino.
Nyakana yataddeyo okwemulugunya mu KCCA n’ewa minisita wa Kampala ng’ategeeza nti UNRA tegeza n’esasula ssente zonna mu kkampuni ya Nalongo Estates kubanga naye alinako ebyobugagga ku Centenary Park ebigenda okukosebwa.
Nyakana yafunye bannamateeka ba Kabega, Bogezi & Bukenya Advocates bamuyambeko era baawandiikidde minisita wa Kampala ebbaluwa nga bamutegeeza ku by’okuliyirira kkampuni ya Nalongo Estates Ltd . Ebbaluwa yawandiikiddwa nga March 24, 2023 nga etegeeza nti Nyakana alina akakwate ku ttaka lya Centenary Park wadde lyawandiisibwa mu mannya ga kkampuni ya Nalongo estates Ltd.
Ebbaluwa eraga nti Nyakana alina ebyobugagga ku ttaka lino ebigenda okukosebwa nga Gavumenti eyisaawo oluguudo lwa Kampala Flyover era naye ateekeddwa okusasulwa ekitundu ku ssente ezitegekebwa okuliyirirwa kkampuni ya Nalongo Estates.
Yagambye nti, bwe baali bakyali mu bufumbo ne Sarah, yakola nnyo mu kussa mu nkola ekirowoozo ky’okufuna ettaka eryo, okuyita mu mitendera gyonna okulikulaakulanya, okukiteeseza mu ofiisi ezenjawulo, okukirwanira n’okukifunako liizi n’okukola endagaano. Bino byonna agamba yabikola mu mukwano era ng’abafumbo bwe babeera era yatuuka n’okuzimbako ebizimbe.
Bannamateeka ba Nyakana baasabye minisita abayambeko aleme kukkiriza ssente zonna ezigenda okuliyirirwa okuweebwa kkampuni ya Nalongo Estates nga ye bamulese bbali.
Looya Kabega yategeezezza nti omuntu we alina ensonga ezirimu omuzinzi ku bwannannyini bw’ettaka lino era bwe kuba kuliyirira Nalongo Estates ne Nyakana talina kulekebwa bbali.
Yategeezezza nti buli kimu okutandikira ku kufuna ettaka eryo, okulirwanirira nga balitwala Sarah yakozesanga linnya lya Nyakana.
Bino we bijjidde nga Sarah Kizito yaakamala okuwoowebwa n’omulenzi we Moses Kaddu gye buvuddeko. Sarah yayawukana ne Nyakana mu 2021. Nyakana yategeezezza nti, ekikyabagata ye pulojekiti ya Centenary Park wadde ne mu pulojekiti eno buli omu alina ekitundu ekikye.
FAMIRE YA KIZITO EBIYINGIDDEMU
Ssempebwa yategeezezza nti wadde bakyawoza mu kkooti naye waliwo aba ffamire ya Sarah Kizito abasitudde enkundi nti ssente ezigenda okusasulwa kkampuni ya ffamire.
Ssempebwa yalabudde nti obutakwatagana bwe buneeyongera mu ffamire ku ssente ate nga okuzimba oluguudo kutuuse ssente bagenda kuziteeka ku akawunti ya kkooti emirimu gy'okukola oluguudo gigende mu maaso.