PREMIUM
Amawulire

Obulungi bweweegulidde ddi lwebukusuula mu buzibu ?

ABANTU ennaku zino bettanidde okunoonya obulungi mu mbeera yonna era bateekamu ne ssente empitirivu okulabika obulungi awatali kulowooza ku bulabe obuyinza kukivaamu. Abamu beeyerusa, okwewummula ebituli mu makundi, amatu, ennyindo, olulimi n’ebitundu by’omubiri ebirala.

Okufumita ennyindo n’ossaamu ebyuma, obukoowekoowe ku maaso, byandivaako obulabe bw’otobikolera mu bakugu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABANTU ennaku zino bettanidde okunoonya obulungi mu mbeera yonna era bateekamu ne ssente empitirivu okulabika obulungi awatali kulowooza ku bulabe obuyinza kukivaamu. Abamu beeyerusa, okwewummula ebituli mu makundi, amatu, ennyindo, olulimi n’ebitundu by’omubiri ebirala.
Abalala basiiga emimwa ne mu maaso wonna awatali kufaayo ku bye bakozesa oba bya bulabe eri olususu oba nedda. Abalala bateeka enjala engule ku zaabwe n’okukozesa amasannyalaze okuzikuumirako okumala ebbanga.
Abaagala okulaga obuzira beekubako ttatu ez’ebintu eby’enjawulo ng’ebimuli, ebisolo, amannaya n’ebigambo oba ebifaananyi by’abantu, n’ebirala.
Dr. Cornelius Masambu, omukugu ku ddwaaliro lya Comprehensive Rehabilitation Services Uganda (CoRSU) agamba nti, okwetooloola ensi yonna abantu ab’enjawulo baagala okulabika obulungi wabula abamu bakola ensobi y’obutagenda mu bakugu ne bafuna obuzibu.
Annyonnyola nti, abantu bakyusakyusa endabika yaabwe olw’ensonga okuli; abo abalina okukosebwa kwe bafuna okuva ku ndwadde enkambwe nga kookolo, obuvune obwafunibwa mu kuzaalibwa n’obubenje, okukula, enkyukakyuka ku mubiri eziva ku kuzaala, endabika y’olususu etebalabisa bulungi n’ebirala.
AKABI AKALI MU KUKYUSAKYUSA ENDABIKA Y’OMUBIRI
Dr. Masambu agamba nti:
l Mu bantu abaagala okugejja obubina n’amabeere oba okugawanika, singa tebakikolera mu bakugu abawandiisibwa ekitongole ekiyitibwa Plastic Reconstruction and Aesthetic Surgeons Uganda, kyangu okukozesa obubi ebyuma babipika ekisusse ne bayuza obusiwa obutono ekivaako okunuubuka n’obulumi.
l Omubiri okwesika ennyokinafuya olususu n’ebitundu ebiri munda ekivaako okuyiikayiika kw’omubiri n’enkula y’ekitundu ekyo okwonooneka.
l Yinfekisoni. Ekyuma ekikozeseddwa bwe kiba tekirongooseddwa bulungi n’okutta obuwuka bwa bakitiriya bwonna, busobola okuyita mu buwundu obutonotono bw’oba ofunye ku lususu n’olwala.
l Okwetukuta kw’omusaayi.
Ekitundu eky’omunda mu mubiri bwe kiba kikoseddwa kisobola okuvaako okwetukuta kw’omusaayi eky’obulabe naddala mu magulu n’akabina.
l Enkola y’omubiri eyamba okufulumya amazzi agateetaagisa eyinza okufuna obuzibu. Kino kivaako amazzi ag’okumukumu okwetuuma mu mubiri ne guzimba ekikosa obulamu bwo.
l Ku bakyala abakozesa enkola ey’okusiiga ebizigo ku bitundu by’omubiri bye baagala okugezza, obuzibu obusooka bwe bafuna mu nkola eno bwa butakolerako ddala nga bwe baba basuubidde. Basiiyibwa olususu, okumyukirira n’okubutuka (alaje) n’okufuna ebinuubule ku mubiri.
l Ebimu birimu obusimu obukolerere obuteekebwamu ekikosa obulamu bwo nga tomanyi.
l Abalala bamira obuweke n’okwekubisa empiso okusobola okugejjesa ebitundu by’omubiri ebimu nga kivaako okugenda mu nsonga nga bayosa, okulumizibwa n’okugejjerera ebitundu by’omubiri ebiralaEmikisa gy’okuzaala gikendeera, ate n’emikisa gy’omusaayi okwetukuta ssaako obulwadde bw’omutima gyeyongera.
l Abamu bakubwa empiso z’ebirungo nga ‘silicone’ oba ‘hydrogel’ mu mubiri naye ng’obuzibu bwazo kuleeta yinfekisoni ku kitundu we bazikubye, obulumi n’okuzaala amasira, okuzimba wansi w’olususu, okuddugala oba okufa ekireeta amabwa.
Empiso ey’ekika kino bw’eba ekubiddwa mu musuwa esobola okutaataganya entambula y’omusaayi ekivaako okugongobala, okukosa ebitundu by’omubiri oluusi n’okufa.
l Abamu bakozesa enkola ey’okutambuza amasavu gaabwe okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala we baagala okugejja, wabula nga wano singa amasavu gayingira mu misuwa gasobola okutuuka ku mutima oba amawuggwe eky’omutawaana.
Oyinza okufuna yinfekisoni oba obutawona bulungi nga bamaze okulongoosa.
ABAGEZZA OBUSAJJA BALI MU BULABE
l Mu basajja abagezza obusajja bwabwe, abasinga bakozesa ebizigo n’empeke ebivaako okusiiyibwa olususu ne alaje.
Enkola zino zisobola okulwaza ekibumba, omutima n’obusimu ekikendeeza amaanyi g’ekisajja n’obusobozi bwe okuzaala n’obuzibu obulala bungi.
OKWEWUNDA OKULALA KW’OLINA OKWEGENDEREZA
Dr. Juliet Basemera, okuva ku Omuksphere Medical and Diagnostic Center e Fort Portal agamba nti, waliwo abalala naddala mu bakyala abeeyerusa nga bakozesa ebizigo n’okwekuba empiso. Kino kivaako olususu okumyukirira n’okufuukuuka, omusana okuyingira obutereevu mu mubiri ekyobulabe, okuguba olususu, emisuwa okudda kungulu, okufuna mugaba, okufuna embalabe n’ebizimba ebireeta amasira kuba obwerinzbw’omubiri bubeera bukendedde.
l Kirinnyisa emikisa gy’okufuna kookolo w’olususu.
l Ebizigo ebikozesebwa ebimu bibaamu ekirungo kya ‘mercury’ ne ‘steroids’ ebikambwe ku lususu ng’osobola okuyingiza obutwa buno munda ekikosa okugeza ekibumba, ensigo n’obwongo.
GENDERERA
Dr. Basemera agamba nti, abakozesa ebintu ebya layisi bye bisingamu ebirungo ebikosa obulamu.
Ku beeyerusa, kirungi n’okozesa ebizigo ebiziyiza omusana okukukosa n’okwabala ebintu ebikubikka ssaako enkoofiira obutakosebwa.
l Genderera ennaku z’omwezi ezaabissibwako okukozesebwa.
l Ebimu birimu ekirungo kya ‘lead’ eky’omutawaana mu mubiri.
l Okukendeeza ku bulabe bw’ebikozesebwa bino, weeyunire ebyo eby’omutindo.
l Weewale okugabana ebikozesebwa ku mubiri gwo, ate ne bw’oba ogenda kwebaka naaba bulungi omubiri gutukule.
l Genderera okufumita amatu, ebitundu by’ekyama, ekkundi n’ebirala n’oteekamu ebyuma kuba kisobola okuvaako yinfekisoni, alaje n’obulumi obusukkiridde.
l Abeekuba ttatu mugenderere kuba oteeka olususu mu katyabaga k’okufuna kookolo

Tags: