EKLEZIA ejjukidde omugenzi Bendicto Kiwanuka eyali Ssaabalamuzi wa Uganda eyabuzibwawo n’attibwa mu 1972.
Omusumba w’e Masaka, Serverous Jjumba ye yabadde omugenyi omukulu nga yasinzidde wano n’asaba ekitongole ekiramuzi okwetengerera mu nkola y’emirimu kyongere okukkakkanya emitima gya bannansi.
“Noolwekyo okujjukira Ben Kiwanuka, nsaba tulowooze nnyo ku bwenkanya ate butuleetere emirembe gye tusaba Kristo. Buli omu ku mutendera kw’ali alwanirire ekyo. Eno y’engeri gye tujja okujjukiramu omuzira ono,” Bp. Jjumba bwe yasabye.
Ku mukolo ogwabadde ku Pope Paul mu Ndeeba, Katikkiro wa Buganda, Peter Mayiga yagambye nti Uganda ekyetaaga abazira nga Kiwanuka kyokka nga tebasoose kuyiwa musaayi!
“Okutemulwa kwe lyandibadde ssomo gye tuli nga twewala embeera zonna ezivaako okutyoboola eddembe ly’obuntu, okutwalira amateeka mu ngalo ate n’okuyiwa omusaayi,” Mayiga bwe yayogedde. Waasoosewo mmisa, Bp. Jjumba gye yakulembeddemu, ne wabaawo omukolo gw’okukoleeza emisubbaawa n’okusimba omuti ogw’ekijjukizo.
Dr. Spire Ssentongo okuva ku yunivasite e Makerere ye yabadde omwogezi omukulu n’atendereza omugenzi ng’eyakola enkyukakyuka ez’omuggundu mu kitongole ekiramuzi okuva lwe yalondebwa nga Ssaabalamuzi nga June 27, 1971.