OMUBAKA wa Bungereza mu Uganda, Lisa Chensney akubirizza Bannayuganda okujjumbira obuyiiya batuukirize ebiruubirirwa by’okunyweza enkulakulaana n’okukuuma obutonde bw’ensi.
Yabyogeredde ku mukolo ogw’okukwasa Pascal Ahaisibwe 19, engule eri ku mutendera gw’ensi yonna eya King’s Trust and TK Maxx & Homesense bwe yatandikawo emirimu ng’ayita mu kutaasa obutonde bw’ensi. Ye Munnayuganda asookedde ddala okuwangula engule eno. Omukolo gwabadde mu maka g’omubaka wa Bungereza mu Uganda e Nakasero mu Kampala.
Ahaisibwe, omuyizi wa S5 ku Nyankwanzi High School e Kyenjojo engule eno yagifunye lwa buyiiya bwe yassa mu kwongera omutindo ku bucupa bw’akung’aanya n’akwata ku bulamu bw’abavubuka banne n’okutaasa obutonde.
Yatandika na kukung’aanya bucupa ku kyalo gye yasanga aba King’s Trust International ne Asante Africa Foundation ababangula abavubuka mu bizinensi okusobola okwetandikirawo emirimu. Baamubangula ng’eteekateeka eno yeetabwamu abavubuka 1,650 okwetooloola eggwanga.
Chesney yagambye nti obuyiiya bwa Ahaisibwe y’emu ku ngeri y’okukyusa endowooza za Bannayuganda nga batandikira ku bintu ebibeetoolodde nga batondawo emirimu. “Bungereza erina enkolagana ne Uganda mu kaweefube w’okukuuma n’okutaasa obutonde bw’ensi, ebyobulambuzi n’ebirala,’’ Chesney bw’agamba.
Engule ya King’s Trust International (KTI) ya nsi yonna nga yatandikibwawo mu 2015, okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu bantu. Ahaisibwe yagambye nti okukung’aanya kasasiro n’okumwongerako omutindo yabitandikira ku kyalo kya Mabira mu ggombolola y’e Nyankwanzi e Kyenjojo gy’azaalibwa ku myaka 15, nga kati leero alina abakozi abasoba mu 50 okuli ne bayizi banne