PREMIUM
Amawulire

Aba siteegi ya Busaabala beegugunze lwa kubongeza ssente

ABA paaka ya takisi eya Busaa-bala - Kategula ku luguudo lw’e Ntebe okumpi ne Shell Kaazi beegugunze ne bazisimba mu kkubo lwa mugagga nnannyini yo okubongeza ssente.

Aba siteegi ya Busaabala beegugunze lwa kubongeza ssente
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABA paaka ya takisi eya Busaa-bala - Kategula ku luguudo lw’e Ntebe okumpi ne Shell Kaazi beegugunze ne bazisimba mu kkubo lwa mugagga nnannyini yo okubongeza ssente.

Kiddiridde Godfrey Kiru-mira nnannyini paaka eno okuwandiikira abagikoleramu n’abategeeza nti okutandika nga September 1, buli takisi etikka erina okusasula 2,500/ okuva ku 4,000/- ezibadde zisasulwa buli takisi ekoleramu buli lunaku.Abbas Mpanga Tebudda, ssentebe wa paaka eno agamba takisi ezisoba mu 80 okuli ezidda e Busaabala, Namasuba, Kikajjo ne Ndejje-Kanaaba mu Makindye Ssabagabo, kati baazizzizza ku kkubo kwe baba batikkira.

Agamba nti okusalawo okuva mu ppaaka eno kiddiridde nnan-nyini yo okubakolako ebikolwa eby’effujjo omuli okugissaamu entuumo z’ettaka, okusimbamu lukululana n’okugikanikiramu.“Paaka eno ekoze kinene okukendeeza akalipaggano mu Kampala kuba abantu abamu batambuza bigere okuva mu Kampala ne barinnyira wano,” Mpanga bwe yagambye.
Mpanga nga ye mumyuka wa ssentebe wa NRM owa Nyago Zone mu Division y’e Makindye agamba nti omulyango takisi mwe zibadde zifulumira omugagga yaguggala nga takisi zirina kudda ku lw’e Ntebe we ziyingirira ate nga we zifulumira.
“Ku ntandikwa ya 2017, paaka eno twali tugisasula emyezi esatu mu maaso nga buli mwezi obukadde munaana, oluvannyuma n’agyongeza okutuuka ku bukadde 8 n’emtwalo 80,” Mpanga bw’agamba.
Yayongeddeko nti, “Oluvannyuma lw’emyaka etaano, omugagga yatandika okusolooza 4,000/- ku buli takisi ekoleramu buli lunaku ate kati ayagala 2,500/- buli takisi lw’etikka ekitegeeza nti buli lunaku takisi emu esasula 10,000/- kuba ezisinga zitikka emirundi ena olunaku.”
Ssentebe w’ekibiina ekigatta aba takisi mu ggwanga Federation of Uganda Taxi Operators (UTOF), Rashid Sekindi yalaze obutali bumativu olwa nnannyini paaka eno obutawuliriza bizibu bya baddereeva ku by’ensasula.
Mu kiwandiikiko kye yawadde KCCA n’awaako kkopi abeebyokwerinda, DISO w’e Makindye, akulira poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano, poliisi ye Katwe n’abalala, yabasabye okugira nga baleka aba takisi bakolerere wonna we basobola nga bwe balaba ekiddako.
Abatakisi abakolera mu paaka eno baagala Pulezidenti ayingire mu nsonga zaabwe omuli n’okubafunira ekifo ekirala eky’enkalakkalira. Moses Mugerwa nga ddereeva wa takisi agamba nti oluvannyuma lwa Gavumenti okukola oluguudo lw’e Busaabala, abantu ababeerayo beeyongera buli kiseera.
Gideon Kabuye mutabani w'omugagga Kirumira nga y’addukanya paaka eno yagambye nti ababadde bakoleramu tebannabagoba wabula balina kusasula 2,500/- buli lutikka nga zino zenkana ne ssente eziggyibwa ku musaabaze omu.
Yagambye nti bingi ebirina okukolebwa ku paaka eno okugituusa ku mutindo era nga balina essuubi nti bagenda kufuna abalala abanaagipangisa singa aba takisi banaalemererwa

Tags: