ABATUUZE abataawandiikibwa kufuna ssente za PDM batabukidde mu lukiiko nga baagala babannyonnyole lwaki baalekebwa ebbali. Balumiriza akakiiko ka LC okulya enguzi.
Mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwatudde mu Dobbi Zone mu Makerere III e Kawempe, abatuuze baalaze obutali bumativu nga bagamba nti, waliwo kyekubiira mu kuwandiika abaagala ssente za PDM nga baagala abavunaanyizibwa okukyusaamu.
Badru Katunzi, yalangidde abamu ku bali ku lukiiko lwa LC okulya enguzi nga baatuuka n’okuviirako bannakigwanyizi okuzimba mu poloti ye mu bukyamu. Ku nsonga y’obumenyi bw’amateeka, yasabye abakulembeze okusitukiramu kuba abantu batulugunyizibwa ekisusse.
Moses Mutebi, omu ku bavunaanyizibwa okuwandiisa abaagala eza PDM mu Makerere III e Kawempe yagambye nti, abeemulugunya abasinga tebalina bisaanyizo nga baagala ntandikwa ng’ate eza PDM za kwongera mu bantu abalina emirimu emitonotono. Yagambye nti, abamu baagala kuteeka ssente ezo mu byabufuzi ekitakkirizibwa.
Yagasseeko nti, mu muluka gwonna, baasooka kuwandiisa abantu 979 nga kati baweze 2,000 ng’ate ssente ntono. Abaakazifunako baatandika okuzizzaayo naye abamu baakunoonya, olwazifuna ne babulawo abalala ne bazinywa. Abantu 300 n’omusobyo be baakaganyulwa mu za PDM ng’abalina ebisaanyizo baalagiddwa okwewandiisa.
Ahmed Alimanya, omu ku ba Giso mu Kawempe, yategeezezza nti, abantu abatayagala kukola abamu beetaaga kubeera mu ‘Zoo’. Kino kyanyizizza abatuuze ne bategeeza nga bw’abavumye. Ku nsonga z’ebyokwerinda, yasabye watondebwewo obukiiko bukwatagane ne poliisi balawune ebitundu okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.
Paul Mukwaya, Ssentebe waDobbi Zone yategeezezza nti, abatuuze okuvaayo ku nguzi efumbekedde mu kakiiko ka LC balimba kuba ensonga ezaayogeddwaako zaaliwo nga tebaliiwo. Ku byokwerinda, yagambye nti, abatulugunya abantu bava mu bitundu birala nga bakwatagana n’abamenyi b’amateeka ab’omu kitundu.
Sande Mubiru Bulevu, akulira ebyokwerinda yagambye nti, bakola ekisoboka okulaba nga balwanyisa abamenyi b’amateeka era obukiiko weebuli obulawuna ekiro so nga buli mutuuze alina kuba mbega ku munne