ABASIRAAMU okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo baakung’aanidde e Seeta mu Goma Division mu munisipaali y’e Mukono mu kuggulawo omuzikiti ogwazimbiddwa okwanguyiza abaddu ba Allah okusinza.
Omuzikiti guno ogwa kalina gwazimbiddwa mu bbanga lya myezi mwenda gyokka era Hajji Dr. Yusuf Nsubuga, eyaliko kkamisona atwala ebyenjigiriza ebya waggulu mu minisitule y’Ebyenjigiriza n’emizannyo, ye yakuliddemu enteekateeka eno ku Ssande.
Dr. Nsubuga yakunze Abasiraamu okwewala okwerwanyisa kye yagambye nti, kizing’amizza enkulaakulana mu Basiraamu n’okussaawo obunkenke obuteetaagisa.
Hajji Najib Kivumbi, eyakuliddemu okukung’aanya ensimbiezaazimbye omuzikiti guno yagambye nti, ssente ezaaguyimirizzaawo zaabadde za kwesonda ku leediyo ya Voice of Africa mu kibiina kyabwe ekya ‘Team Amanu’. Gwaweereddwa erinnya lya Masjid Noor.
“Tetufunye batukwasizaako okuva mu Gavumenti oba mu bagabirizi b’obuyambi mu mawanga g’ebweru, wabula ssente zivudde mu kusonda,” Hajji Kivumbi bwe yategeezezza.
Ssentebe w’omuzikiti guno, Hajji Yusuf Ssewanyana yagambye nti, gutudde ku yiika emu n’ekitundu ng’omugenzi Jaffer Ssendege ye yaliwa Obusiraamu. Kivumbi yasiimye aba ffamire ye obutataataaganya nteekateeka za Busiraamu nga bwe kitera okuba mu ffamire endala.
RDC w’e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka yasanyukidde Abasiraamu abaakwatidde awamu mu kuzimba omuzikiti guno n’agamba nti, wadde mingi gizimbiddwa mu bitundu ebirala, guno gwa nkizo kuba munene bulungi, guli mu kibuga ate ku luguudo. Yakunze Abasiraamu obuteetuulako beekolemu ebibiina bafune mu nteekateeka za Gavumenti okuli ey’Emyooga ne PDM.
Ye omuwandiisi w’ekibiina ekitaba ebibiina by’Abasiraamu mu East, Central ne Southern Africa, Sheikh Rashid Kasangaki yagambye nti, kati mu Mukono baakazimbamu emizikiti ena nga bayita mu nteekateeka eno.