Obulabirizi bwe Mukono busse omukago n'essaza Kyaggwe okutumbula eby'obulimi

OBULABIRIZI bw’e Mukono nga buli wamu n’e Ssaza kyaggwe basse omukago ne disitulikiti y’e Mukono okwongera okutumbula eby’obulimi n’obulunzi mu kaweefube ow’okulwanyisa obwavu mu bantu.  

Omulabiriz we Mukono Rt.Rev.Enos Kitto Kagodo ne Ssentebe wa Disitulikiti ye Mukono Rev. Peter Bakaluba Mukasa nga balaga endagaano ekoleddwa
By Joan Nakate
Journalists @New Vision

OBULABIRIZI bw’e Mukono nga buli wamu n’e Ssaza kyaggwe basse omukago ne disitulikiti y’e Mukono okwongera okutumbula eby’obulimi n’obulunzi mu kaweefube ow’okulwanyisa obwavu mu bantu.

Enteekateeka eno etegekeddwa ekitongole ky’ebyobulimi n’obulunzi ekya disitulikiti eno kikwaasizza Omulabirizi w’eMukono Bishop Enos Kitto Kagodo ebyuuma ebifukirira ebirime mu biseera eby’omusana, eddagala erifuuyira ebirime, endokwa z’omuddo gw’ente ogw’embala, endokwa z’emywaanyi n’ebirala bingi ebyabaliriddwamu obukadde obusoba mu 200.

Dr Fred Mukulu anyonyodde nti enteekateeka eno egendereddwaamu okukozesa abantu ab’enkizo, abo abantu b’e Mukono be basinga okuwuliriramu ennyo era be bawa ekitiibwa okubunya enjiri ey’okuva mu kulera engalo wabula beenyigire nnyo mu kulima basobole okwegobako obwaavu.

Dr Mukulu ng'alaga Obulabirizi ebimu ku byuma ebyongera omutindo ku birime

Dr Mukulu ng'alaga Obulabirizi ebimu ku byuma ebyongera omutindo ku birime

“Tusse omukago n’eSsaza Kyaggwe nga kwogasse n’obulabirizi okulaba ng’abakulembeze abo batuyambako ku mulamwa gwaffe ogw’okukunga abantu okulima emwaanyi, ebitooke n’okulunda ebisolo eby’enjawulo.

Mu nkola eno era tugya kuba tutalaaga ebitundu eby’enjawulo okubasomesa ku nnima ey’omulembe basobole okufuna obukugu obw’enjawulo, tusuubira nti enkola eno egenda kuyamba disitulikti okweyongerako ebitundu 60 ku buli kikumi ku bantu abagenda okwenyigira mu kulima nadda eri abo ababadde batakulabamu mugaso”Mukulu bw’agambye.

Omulabirizi asiimye nnyo enteekateeka eno era n’ategeeza nga bw’agenda okulwana okulaba ng’abakristaayo awamu ne bannamukono bonna begyamu embeera y’okuvumiririra eby’obulimi olw’abamu ababiraba ng’omutali mulamwa, n’enteekateeka endala zonna eza gavumenti z’ezze ereeta ez’okwekulaakulanya.

Ssekiboobo Elijah Boogere Lubanga Mulembya, agambye nti obulimi n’obulunzi by’ebimu ku bikyasinze okuyitimusa essaza lino era nti ssinga banaanyweerera ku mukago guno, obwavu bwandifuuka olufumo mu disitulikiti yonna.