Amawulire

Obujjanjabi obusookerwako okusinziira ku kika ky'omusota ogukubozze

Obujjanjabi obusookerwako okusinziira ku kika ky’omusota ogukubozze 

Obujjanjabi obusookerwako okusinziira ku kika ky'omusota ogukubozze
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Abakugu mu by’emisota bakunganye okusala amagezi okulaba ng’abantu ababa balumidwa emisota bafuna bataasibwa. 

Danis Kirabira okuva mu kitongole ekitumbula ebyobulamu ekya HEPS-Uganda agamba nti obuzibu bw’okulumwa emisota bunene nnyo mu ggwanga era nga mu nsi yonna, abantu abasoba mu 7400 buli mwaka balumwa emisota. 

Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa yunivasitte y’e Makerere  mu Ugamba kumpi abantu 100 ku buli 100,000  balumwa emisota,ebyembi,abantu abasinga abalumwa emisota tebagenda mu malwaliro.Kyazuulibwa ng’abantu kumpi 70 ku buli 100 abalumwa emisota bakoma mu bettanira obujjanjabi obw’ekinnansi ate nga nabo tebakozesa nzijanjaba ntuufu ekyongera okuteeka obulamu bw’abantu mu matigga.  

Okunoonyereza era kulaga nti abasawo abali mu malwaliro kumpi 90 ku buli 100 tebaasomesebwa kujjanjaba bantu balumiddwa misota sso nga n’eddagala erijjanjaba omuntu abojjeddwa omusota mu malwaliro teririiyo.

Ebika by’emisota ebisinga okubeera eby’obulabe mu ggwanga  

James Ntulume omukugu mu by’emisota okuva mu kitongole ekinoonyereza,okujjanjaba n’okusomesa ebikwata ku misota agamba nti teri musota muto,kuba n’ogwakamala eddakiika ettaano nga gwakazaalibwa gusobola okukubojja n’ofa. 

.Naye omusota bwe guba gukulumye, genderera ekika ky’omusota ogukulumye kisobozese abantu okumanya bwe bakutaasa.  Okuvumula obusagwa bw’omusota kisinzira ku kika ekikulumye. 

Mu ggwanga tulina ebika by’emisota ebisoba mu 80 naye ng’egisinga okuba egy’obulabe mulimu essalambwa, enswera, ettemankima, ttimba n’ebirala. 

Snake Timba2

Snake Timba2

Ebika by’emisto bina ebisinga okuba eby’obulabe mu ggwanga; 

1-Essalambwa; 

            Gino gyemisota emimpi eminene era nga girimu ebikka bisatu omuli ; 

  • ssalambwa kitwe, 
  • ssalambwa mayembe ,guno teguviira ,gulina obusagwa bungi ate gulina erinnyo eggwanvu,bwe gukuluma liyitamu. 
  • ssalambwa magondogondo, gulina obusungu ,gukozesa sipiidi,gulina obusagwa bungi ate gukutema emirundi mingi . 

Emisota gino bwe gikuluma ozimba we gulumye. 

2-Enswera; 

Omusota guno gusangibwa wonna mu ggwanga era nga gubeera mu biswa, gwagala ebitundu ebirimu amazzi, ebibira ne mu nsiko. Enswera erimu ebika nga bisatu omuli ; 

Enswera luwandula; 

Omusota guno gusinga kusangibwa Kasese,Mbarara ne Kabale. Bwe guba gunaakukolako obulabe ,guyimusa omutwe mu bbanga nga gukulabula era bw’ogusemberera gukuluma. 

Bw’oba weesudeko ebbanga, guyimusa omutwe gwekenneenya  amaaso go n’oluvannyuma ne gukuwandulira obusagwa mu maaso ate baguyita mutasubwa. 

Naye kw’otegeerera nti omusota guno gukukozeeko obulumbaganyi, amaaso gamyuka,okusiiwa n’okuluma. 

Enswera kibira; 

Guno muddugavu mu ndabika naye bwoba togutawanyiza teguluma. 

Enswera ey’emisiri; 

Gwa kyenvu mu ndabikaera nga gwegusinga okuba nobusagwa obungi. gwagala nnyo okubeera mu bitundu ebikalu era nga gusinga kusangibwa Busoga ne Lira. 

3-Ettemankima; 

Omusota guno munene ,gulina akakira akadugavu naye nga gwa kiragala okwefananyirizako ne langi y’ebikoola era nga gutera kubeera ku miti,mu bikajjo ne gwebulizabuliza mu bikoola. Tegutera kubeera wansi wabula oluusi gukka nga gwagala okulya emmese oba amazzi.   

Omusota guno bwegukubojja gusindika mangu obusagwa mu mubiri era kitwala eddakiika 10 oba 15 omuntu okukyuka oba okufa. 

4-Ttimba 

Timba gwe musota ogusinga obunene mu ggwanga oba ne mu Africa okutwaliza awamu, Gubeera nnyo mu biswa, mu bibira ebirinaanye amazzi,mu nimiro enene kuba gyagalayo ebyokulya. 

Ttimba wa bulabe naye nga tegulina busagwa, gulina amannyo 100 era bwe guba gukulumye tegulina bulabe bwe guyinza kuteekako okuggyako okukulekera ekiwundu.  

Snake Timba1

Snake Timba1

Obujjanjabi obusookerwako okusinziira ku kika ky’omusota ekikulumye; 

Martina Kia omusawo w’ebisolo okuva mu CTC Conservation Centre agamba nti obuvune bw’ofuna ng’omusota gukubozze oluusi kisinziira ku bungi bw’obusagwa omusota bwe gukutademu. 

Ekirala,  bw’obeera omkukakkamu obusagwa bulwawo naye bw’oba otidde nnyo butambula mangu kuba omutima gwo guba gukuba nnyo, sipiidi y’omusaayi kwe gutambulira ne yeeyongera. 

Esalambwa; 

Sooka okkakkanye omulwadde aleme kutya kubanga kitangira obusagwa okutambula amangu n’oluvannyuma atwalibwe mu ddwaaliro mu bwangu. 

Enswera luwandula; 

Bweba eku kozeeko obulumbaganyi,olina kunaaba mu maaso mbagirawo, okusobola okusaabulula obusagwa .Tokunya maaso kuba oyinza okufuuka muzibe ng’obusagwa buyingidde. 

Bwoba tofunye nmazzi oyinza okunaabisa omusulo era ng’omusulo gw’omukazi gwe gusinga okukola naddala ogw’abakadde.  

 “Enswera ey’emisiri, enswera kibira n’ettema nkima,” ebika by’emisota bino bwe bikubojja , osannyalala n’obeera nga omuntu afudde kubanga obusagwa bwagyo butta amasannyalaze g’omubiri agakukkiriza okwogera, okutemya, nga nga tosobola kukola kintu kyonna . 

Omuntu bwomusanga ng’omusota gwamubozze naye ng’alinga asannyaladde ,abeera yabojjeddwa enswera oba ettemankima.  

Obujjanjabi obusookerwako bw’olina okumuwa ,sooka omukkakkanye. 

Funa bandeegi erimu lasitiika, pima yinsi emu okuva omusota we gumulumye ogimusibe okugulu kwonna okutuuka mu kiwato. Naye bw’oba tolina bandeegi eyo, osobola okusala tissaati n’ogisalaasalamu obugoye n’omusiba ng’omyumyuddemu katono emukwate bulungi kubanga kiyambako obusagwa obutatambulira ku sipiidi  

Ttimba bw’akukwata okola otya? 

Ttimba bwaba akulumye naye nga tannatandika kuzinga,tomuganya kuzinga ,fuba okulaba nga togulwanyisa nnyo,tambula mpolampola ngoguwalula  nga bw’oyita abantu bakuyambe, ekinaavaamu ajja kukwetakkuluzaako mpolampola akuleke. 

Naye bwoba obade n’omukisa mubi nga gutandise okuzinga,gye gweyongera okuzinga gutuuka mu kifuba gusobole okunyiga embiriizi zifumite omutima ofe. 

Naye bwe guba gumaze okusiba emikono, fuba okulaba ng’oguluma nnyo okugugyako ekiffi,olw’obulumi obwo gujja kukwetakkuluzaako gukuveeko. 

Tags: