Amawulire

NSSF ezzeemu kaweefube w'okusomesa abantu obulungi bw'okweterekera

NSSF ezzeemu kaweefube w'okusomesa abantu obulungi bw'okweterekera 

Patrick Ayota akulira NSSF ng'annyonnyola
By: Procopios Lumu, Journalists @New Vision

Kaweefube w’okwagazisa abantu okweterekera ensimbi z’obukadde ayongeddwamu ggiya abakungu  okuva mu kittavvu ky’abakozi ki NSSF bwe batandise okuddiza abateresi ssaako okusomesa abantu ebirungi ebiri mu kuterekera  obukadde bwabwe.

Bano nga bakulembeddwamu minisita atwaala abakozi n’ekikula ky’abantu Betty Amongi ne Ssenkulu w’ekitta vvu ky’abakozi Patrick Ayota wamu n’omubaka w’ekitundu Amos Lugoloobi  olunaku lw’eggulo  batongozza ekiffo ekisomesa abavvubuka okutunga n’okukola amasweeta ku kyalo Busaale  e Kayunga.

Amongi ng'annyonnyola

Amongi ng'annyonnyola

Mu kifo kino  ekisangibwa ku kyalo Busaale mu Ntenjeru North  ekisangibwa mu disitulikiti ye Kayunga bataddemu ebyaalani eby’ekikuggu ebiwera amakumi ataano wamu n’ebyo ebiruka  amasweeta saako ppaasi ez’omulembe  ezigoloola engoye ezitungibwa.

Mu kwogera kwe omubaka w’ekitundu kino era minisita w’ensimbi Amos Lugoloobi yasiimye aba NSSF olw’omulimu omulungi gwe bakoze mu kitundu ky’akiikirira  Busaale. Wano w’asabidde abantu okukomya okwekuumira emabega nga balowooza nti ebirungi biva bweru wa ggwanga.

Lugoloobi yagambye nti abantu be ekituufu tebalina bukugu bumala kyokka n’abasaba okufaayo basobole okuyiga olwo buli kimu kigenda kukyuka mu bulamu bwabwe.

Ate ye akulira Busaale  Technical and  Vocational Training Institute  Bruno Sserunkuuma yasiimye NSSF olw’okuwayo  ebyalaani bino  nga ono alowooza nti bino bigenda kukyusa obulamu bw’abantu mu kitundu kino.

Mu kwogera kwe akulira ekitta vvu ky’abakozi Patrick Ayota ategezezza nti okutereka ensimbi ez’obukadde kwaki ku manyiddwa nnyo ng’akwabakozi ab’amataayi okutuusa Minisita Betty Amongi bwe yatwala ebbago mu palamenti  olwo ne bamufuna mpola ne bakirizibwa okweterekera ensimbi ez’obukadde.

Abamu kubaganyuddwa mu nsimbi za NSSF

Abamu kubaganyuddwa mu nsimbi za NSSF

Ayota bwe yabadde ayogerako eri abantu mu kitundu kino  yagambye nti mu ntandikwa  kino kyalabika nga  kigenda kubeera kizibu ddala eri   ba mufuna mpola   okubaagazisa  okutandika okutera  ne NSSF nti kyokka kati bakitereeza era kati  buli muntu waddembe okweterekera ensimbi ze okuviira ddala ku  nusu bitaano ez’ensimbi za Uganda.

Mu nteekateeka eno Ayota yategezezza nti  basobodde okufuna abateresi obukadde obusoba mu busatu n’ekitundu era nga ze ssente zebawola gavumenti olwo nebakolera enguudo n’ebirala ate nezikola amagoba.

Ono yategezezza nti pulojekiti eno ey’ebyalaani mpya era  nga bakyagigezesa nga bagenda kugitambuza mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo omuli Sheema,Mitooma ne Lira. Ono asabye abantu mu kitundu kino ekye Kayunga okwekubiriza okutereka ensimbi basobole okutegekera obukadde bwabwe.

Minisita w’abakozi n’ekikula ky’abantu Betty Amongi mu kwogera kwe agambye nti bawadde abantu mu kitundu kino okusobola okukyusa obulamu bwabwe nga batunga ebintu eby’enjawulo omuli amasweeta, uniform z’amasomero n’engoye z’abantu abalala.

Kyokka ono abasabye okuwandiisa bizinensi zaabwe n’ekitongole ki URBS olwo basobole okutereka ensimbi ezinabataasa mu bukadde bwabwe

Tags: