Amawulire

Munnamawulire asindikiddwa mu nkomyo afune empisa lwa kubika mukyala Museveni

MUNNAMAWULIRE wa Alternative Digital Online Media Arnold Anthony Mukose y’asindikiddwa mu kkomera e Luzira ku misango mw’agambibwa okufulumya amawulire ku mukyala Pulezidenti nti afudde.

Munnamawulire asindikiddwa mu nkomyo afune empisa lwa kubika mukyala Museveni
By: Edward Luyimbazi, Journalists @New Vision

MUNNAMAWULIRE wa Alternative Digital Online Media Arnold Anthony Mukose y’asindikiddwa mu kkomera e Luzira ku misango mw’agambibwa okufulumya amawulire ku mukyala Pulezidenti nti afudde.

Mukose 41, yasimbiddwa mu kkooti ya LDC mu maaso g’omulamuzi Ivan Maloba n’amusomera emisango ebiri okuli okufulumya amawulire ag’obulimba n’okulumya mw’agambibwa okutegeeza nti mukyala wa Pulezidenti, Janet Kataha Museveni yali afudde.

Mukose mu kkooti

Mukose mu kkooti

Emisango gino gyona yagyegaanyi era omuwaabi wa gavumenti Racheal Namutebi n’ategeeza ng’okunonyereza ku misango gino bwe kwaggwa ‘nasaba kkooti ebawe olunaku lw’okutandika okugiwulira.

Okusinziira ku mpaaba kigambibwa nti Mukose n’abalala abatannakwatibwa nga March 26 ,2026 nga basinziira ku mukutu ogwa Alternative Digital Media nga abakimanyidde ddala mu bumenyi bwa mateeka nti bafulumya amawulire ag’obulimba baagamba nti  mukyala wa Pulezidenti Museveni Janet Kataha Museveni nti yali afudde.

Mu kiseera kye kimu ekyo Mukose ne banne ne banne abatannakwatibwa mu bumenyi bwa mateeka baafulumya amawulire ag’okulumya bwe baategeeza nti Janet Museveni afudde .Mukose yasindikiddwa  ku limanda mu Kkomera okutuusa nga April14, 2026.

Tags:
Amawulire
Mukyala
Mukyala Museveni
Kufuna
Mpisa