SSAABAWAABI wa gavumenti yejjeereza abasajja babiri kw’abo abaavunaanibwa n’agambibwa okkuulira akabinja Ka ADF.

Abamu ku bejjeerezeddwa.
MU kiwandiiko ekyassibwako omukono gwa ssaabawaabi wa gavumenti Jane Francis Abodo nga January 28, 2026 Daniel Wanyama ne Robert Wandera bejjeerezeddwa ku misango okuli ogw’obutemu ,obwakkondo, okugezaako okutta abantu, n’okubeera bammemba mu kibinja kya batujju.
Mu kiseera kino ssaabawaabi aliko ye Lino Anguzu. Thomas Jatiko okuva mu ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti ayanjulidde kkooti ewulira emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna nti baggye enta mu kuvunaana abawawaabirwa bano.
Omusango gukomyewo olwaleero okuwulirwa mu maaso g’abalamuzi bana aba kkooti eyo.
Abejjeerezeddwa babadde bamaze emyaka 11 mu kkomera oluvannyuma lw’okukwatibwa mu 2015.
Looya waabwe ategeezezza kkooti nti ssaabawaabi wa gavumenti w’aleetedde bino nga Wanyama yasaba okweyimirirwa emirundi ebiri ne bamugaana okumutta, n’assaamu okusaba omusango gugobwe kubanga yali talina wakonebwako ku bujulizi obwali buteereddwa era abakulu ne bereema noolwekyo ng’omuvunaana kwali kumenya mateeka.
Looya ayongeddeko nti embeera bw’eti yeetaga okwekenneenya naddala ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti ne poliisi ku ngeri y’okunoonyereza n’okuwa abawawaabirwa akakalu ng’abantu basibwa olw’emisango gye bagamba eminene awatali bujulizi ate okumu ne baddamu okukwatibwa abakuumaddembe.
Bwatyo asabye wabeeyo ekyokuyiga eri kkooti, abawaabi ne poliisi kubanga Wanyama kyasibiddwa ng’ate tewali bujulizi
Abawawaabirwa abalala okuli ne Jamir Mukulu weebali mu kkooti era omusango gugenda mu maaso n’okuwulirwa obujulizi bw’oludda oluwaabi.