POLIISI y'e Luweero ekoze ekikwekweto ky'okufuuza ababbi b'ente n'ekwata babiri n'okuzuula ente ezigambibwa okubeera enzibe eziwera 68.
Ekikwekweto kyakoleddwa ku kyalo Kigumbya mu ggombolola y'e Kamira mu Luweero nga kyaddiridde okufuna amawulire g'abaabadde batunda ente eziteeberezebwa okubeera enzibe.

Ente poliisi ze yakutte
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti DPC wa Luweero SP Brighton Ahimbisibwe ye yeekwatiddemu ne bazinda ekyalo Kigumbya ne basajja be nga baasoose kusindika muserikale.
D/AIP Twaha Muzafaru, okuva ku poliisi e Kikyusa okugenda ng'omuguzi w'ente n'alamuzagana nabo.
Abagambibwa okubeera ababbi b'ente basatu beesowoddeyo n'ente eziwera 68 kyokka mu kuzitikkula zaabataamidde nga zaagala kubatomera era wano we baabakwatidde.
Twineamazima agamba nti ente zaazuuliddwa nga zabbiddwa ku fFaamu ya Mubiru nga maneja waayo Kintu yasobodde okweteGereza Fred Kayima omukozi ku Ffaamu eno eyabadde n'ababbi abasatu.
Abakwate mulimu Fred Kayima (42) ow'e Kigumbya, Muzafaru Kasenge (25) nga muvuzi wa bodaboda omutuuze ku kyalo Kabunyata mu ggombolola y'e Kamira ne Henry Semwanga (24) naye omutuuze w'e Kabunyata.
Kigambibwa nti abantu bano babbi ba nte ba lulango mu kitundu kya Kamira n'ebyalo ebiriranyeewo nga bagenda kunoonyerezebwako baggulweko emisango gy'obubbi.