Ebya munnamateka Male Mabiriizi bikyalanda oluvannyuma lwa kkooti okumuggyako emisango gy’abadde awerennemba n'agyo n’emuggulako emirala.
Bino we bijjidde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu omuwaabi wa gavumenti Richard Birivumbuka lwasabye kkooti okuggyawo emisango egibadde gyaggulwa ku Mabiriizi.
Birivumbuka yawadde ensonga n’ategeeza omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ritah Neumbe Kidasa nti okusinziira ku tteeka erifuga enkozesa y'ebyuma bikalimagezi eryasaziddwamu kkooti etaputa ssemateeka oludda oluwaabi lwasazeewo okuggyayo enta mu musango guno nga batekesa mu nkola ebyasaliddwawo kkooti.
Omulamuzi yakkirizza okusaba kwabwe era emisango n’agiggyawo era kino kyaleese akamwenyu ku matama ga Mabiriizi, wabula nga n’akatayi tekannasala ono bazzeemu ne bayita ffayiro y'emisango emipya ekintu ekimuggye mu mbeera n’atandika okuyisinganya ebigambo n'omulamuzi.
Wabaddewo okusikang’ana omuguwa nga Mabiriizi asaba kkooti okumuwa obudde asooke yeerowoze oba nga ddala mwetegefu okusomebwa emisango gy’abadde tamanyiiko mayitire.
Omulamuzi yagenze mu maaso n'okumusomera emisango emipya era nga emisango ebiri egisooka kigambibwa nti mu January wa 2026 mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo okuli disitulikiti y’e Kampala ne Wakiso yafulumya amawulire amakyamu ng’ayita ku mukutu gwe ogwa TikTok mu mannya ga @male.mabirizi, yasaasaanya obubaka mwe yategereza nti Ssaabalamuzi w'eggwanga Dr Flavian Zeija mufere era muli wanguzi n’ebirala.
Ono teyakoma ku Ssaabalamuzi wabula yawalampa omulamuzi wa kkooti ejulirwamu Musa Ssekaana ng’agamba nti mufere era mubbi ekitaali kituufu.
Omusango ogw'okusatu ogumugguddwako gwakuddukanya mukutu gwa mpuliziganya ogwa TikTok mu mannya ga male mabirizi nga talina biwandiiko ebimukkiriza kuddukanya mukutu guno okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kulondoola n’okulambika ebigenda ku mpewo ku byempuliziganya ki UCC.
Mabiriizi bw’abuuziddwa oba nga gino yagizza n’ategeeza nti simwetegefu kukkiriza oba okugaana kubanga omulamuzi yagaana okwesonyiwa okuva mu musango gye nga akimanyi bulungi balina embiranye era nti kkooti terina lukusa luwulira misango gimugguddwako era nti tegirina njawulo na gimugiddwako.
Ebyo byonna omulamuzi tabifuddeeko era omusango agwongeddeyo okutuusa nga April 15, okuwa ensala ye ku Mabiriizi by’awakanyizza.