Nnamukadde ow'emyaka 99 asattira olw'abaagala okumubbako ettaka lye

NAMUKADDE Hellena Namazzi ow'emyaka 99 omu kubaatandikawo Essomero lya Uganda Martyrs S S Namugongo ali mu kusattira  olw'Abagagga abefuula abasuubuzi b'Ettaka abeesomye okumubbako ettaka lye  ku kifuba nga agamba nti batandise n'okumutisatiisa okwagala okumutta.

Nnamukadde ng'asaba ssappule okumutaasa ku babbi b'ettaka
By James Magala
Journalists @New Vision
NAMUKADDE Hellena Namazzi ow'emyaka 99 omu kubaatandikawo Essomero lya Uganda Martyrs S S Namugongo ali mu kusattira  olw'Abagagga abefuula abasuubuzi b'Ettaka abeesomye okumubbako ettaka lye  ku kifuba nga agamba nti batandise n'okumutisatiisa okwagala okumutta.
 
Namazzi nga mutuuze ku kyalo Bulooli ekisangibwa mu Division y'e Namugongo mu Munisipaali y'e Kira agamba nti ye abaana be omuli n'Omusisita Ssekukkulu eno baagiridde bakukunadde olw'ekibaluwa ekyamuweebwa abeefuula abasuubuzi b'e Ttaka mu Kampala,nga bamulabula okwesonyiwa ettaka lye oba si ekyo waakulugulamu obulamu.
 
Wakati mu nnaku Namukadde Hellena Namazzi atottodde ennaku mwawangalira olw'abagagga abamutisatiisa okumutta basobole okutwala ettaka lye kw'abadde emyaka 66 egiyise nga wano alaajanidde Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja ne Minisita w'eby'Ettaka Judith Nabakooba okuyingira mu nsonga ze afune obwenkanya aleme kufa nga abundabunda n'Abazzukulu.
Nnamukadde ng'alaga empapula z'ettaka

Nnamukadde ng'alaga empapula z'ettaka

 
Bo abaana ba Namazzi nga bakulembeddwamu Sisita Dr.Najjuka Justina bagamba nti bazze beekubira enduulu mu wofiisi ez'enjawulo nga ne Kkooti ensukkulumu yasalawo ensonga z'Ettaka lya nnyabwe okuddamu okwetegerezebwa nti kyokka ekisinga okubaluma kwekuba nti abalumbagana Nnyabwe bagamba nti ettaka lino baakulitwala kifuba!
 
Wano Sisita Najjuka asabye wabeewo okunoonyereza okwannamaddala ku muntu omutuufu Ali emabega w'abafere bano abaagala okubba ettaka lya nnyina olw'ensonga nti basusse okunyomoola Kkooti nga bagamba nti bo balina abanene mu gavumenti nti era tewali muntu yenna ayinza kubalemesa kukola kyebaagala.