Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga akubye omulanga ku butonde bw'ensi

NNALINYA Lubuga Agnes Nabaloga asabye Obuganda okussa essira ku kukuuma obutonde bwensi okuwonya Uganda enkyukakyuka y’ensi  okuli akasana n’ebuggumu erisusse.Okwogera bino yabadde aggulawo enteekateeka y’okuleeta amakula ga Kabaka mu Lubiri omwaka guno ng’omukolo gwabadde mu Lubiri e Mmengo nga February 22,2023 n’agamba nti ensonga y’enkyukakyuka y’obutonde bwensi erina okwogerako.

Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga akubye omulanga ku butonde bw'ensi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

NNALINYA Lubuga Agnes Nabaloga asabye Obuganda okussa essira ku kukuuma obutonde bwensi okuwonya Uganda enkyukakyuka y’ensi  okuli akasana n’ebuggumu erisusse.

Okwogera bino yabadde aggulawo enteekateeka y’okuleeta amakula ga Kabaka mu Lubiri omwaka guno ng’omukolo gwabadde mu Lubiri e Mmengo nga February 22,2023 n’agamba nti ensonga y’enkyukakyuka y’obutonde bwensi erina okwogerako.

Aba Bangafi Agro-Forestry abaakulembeddwa omutandisi wa Kkampuni eno Vicent Kasozi Muwonge nga bawaayo amakula gaabwe

Aba Bangafi Agro-Forestry abaakulembeddwa omutandisi wa Kkampuni eno Vicent Kasozi Muwonge nga bawaayo amakula gaabwe

“Nkubiriza abantu baffe okwezimbamu omwoyo gw’okukuuma obutonde ate nti ffenna ebbuggumu tuliwulira era tuli wano ffenna twewujja naye emiti ffe tugyetemera ate nga ffe abagyetaaga.Mwebale nnyo mwe ababadde bagezaako era temuddirira,” Nnalinya Lubuga wa Kabaka Mutebi II bweyasabye

Yayongedde n’akubirizza abantu okunyikirira okusomesa abaana nga batandikira ku lulimi Oluganda okuva awaka ate n’okubasigamu ensigo ez’obuntubulamu nga bino byebigenda okwongera okuggumiza n’okuyitimusa Obuganda.

Minisita w’obuwangwa,ennono,obulambuzi n’olulimi Oluganda mu Buganda,David Kyewalabye Male yasinzidde wano n’akubirizza abantu okwogera okukola ennyo kubanga buvunanyizibwa bwaabwe okulabirira Kabaka waabwe ng’ennono bweeri.

Aba Golden Gate Choir nga bayimb

Aba Golden Gate Choir nga bayimb

Ku mulundi guno amakkampuni agali mu nzikkiriza y’Abaseveniside zaaleese amakula okwegatta ku malala agaakiise. Mugano kuliko Bangafi Agroforestry ne Bangafi Company Uganda Ltd ezikulirwa Vicent Kasozi Muwonge nga bano baleese emiti Kabaka asiime gisimbibwe,enkoko n’ebyokulya ebirala.

Light College Katikamu ne Bulenga agakulirwa Joseph Mbuga,Alice Memorial e Kyaggwe abakulirwa Fred Mugalu, Hallmark Construction & Painting company abakulirwa omukadde James Kayita,Elimu Company abakola ebibajje nga baakikkiriddwa Paul Yiga baaleese amakulu okwabadde ente zonna wamu taano n’emmere ey’enjawulo.

 Minisita Kyewalabye ng'ayogera

Minisita Kyewalabye ng'ayogera

Ate aba Brooks Agro Farm Ltd e Kitojo-Buwama mu Mawokota abakulirwa Denis Bugaya nga ku mukolo guno baakikkiriddwa Julian Ttendo Nansubuga  nga baaleese amagi tule z’amaggi 150 n’emmere