MUNNANSI wa Tanzania eyali yajja okukuba ekyeyo mu Uganda asindikiddwa mu kkomera e Luzira n’abalala babiri ku bigambibwa nti babba obukadde 600 n’omusobyo.
Bano baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi eyabasomedde emisango 21 nga gy’onna gyekuusa ku kufuna ssente mu lukujjukujju era n’ebagyegaana wabula omuwaabi wa gavumenti mu musango guno Ivan Kyazze yategeezezza nti okunonyereza kwaggwa dda nga beetegefu okuleeta abajulizi abalumiriza ku buzzi bw’emisaango gino.
Eric Lugeleka Talemwa 42 ono nga munnansi wa Tanzania nga asula mu bitundu bye Ntinda mu kampala, avunaanibwa ne Eve Gershom Tania 39 omutuuze we Buye 11 ekisangibwa mu zooni ye Ntinda mu disitulikiti ye Kampala wamu ne Bob Anthony Tumwebaze omutuuze we Luzira mu zoone ya Lakeside mu munisipaali ye Nakawa mu disitulikiti ye kampala.
Bannamateeka ba bawawabirwa bano okwabadde Benard Mbonga, Brian Nuwamanya ne Ibrahim Lukwago baasabye kkooti abantu baabwe okweyimirirwa wabula nga baabadde tebeeteeseteese kimala nga wano omulamuzi yabuuzizza Lugeleke oba nga alina obutuuze mu Uganda nategeeza nti yajja kukuba kyeyo.
Omulamuzi Kayizzi yawadde mu nnamateeka wa munnansi wa Tanzania amagezi okufuna abayima abasaanidde nga balina ku mirimu egyegasa ate nga bannayuganda okusiinziira nti ono si mutuuze mu nsi mweyaddiza emisango era kuno balina okugattako ebyapa by’ettaka ne paasipoti zaabwe nga kwotadde neya Lugeleke kibasobozese okwemweyimirira.
Emisango egibavunaanibwa kigambibwa nti mu October wa 2022 ne 2023 ku luguudo lwa Semawa olusangibwa e Ntinda baawayo emisingo egyokwekulaakulanya nga tebalina biwandiiko bibakkirizza okuva mu kitongole kitwala by’abutale.
Emisango emilala kigambibwa nti abasatu baafuna ssente mu lukujukujju okuva ku bantu abenjawulo era nga bano babajjako ssente okuva ku bukadde 5 okutuukira ddala ku 120 nga omugatte zonna ziweza obukadde 600 nomusobyo nga babafeze nti zaali za kweterekera byonna nga byatuukawo okuva mu March okutuuka mu September wa 2023 mu kibuga wakati.
Omulamuzi yabasindise e Luzira okutuusa nga July 9 lwebanakomezebwawo okusaba okweyimirirwa wamu n'okutandika okuwulira obujulizi mu musango