Ennyonyi ya UPDF egudde e Somalia n’etta abajaasi 5

ENNYONYI ya UPDF emmwaanyi egudde e Somalia n'ettirawo abajaasi 5 n'okulumya abalala 3.

Kulayigye
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ENNYONYI ya UPDF emmwaanyi egudde e Somalia n'ettirawo abajaasi 5 n'okulumya abalala 3.
Omwogezi wa UPDF, Maj. Gen. Felix Kulaigye mu kiwandiiko kye yafulumizza eggulo, yagambye nti, ennyonyi eno ey'ekika kya Mi-24, nnamba AUO-015 yagudde kumpi n'ekisaawe kya Mogadishu International Airport ku ssaawa 1:30 ez'oku makya.
Maj. Gen Kulaigye, yagambye nti, yabaddemu abantu 8 abaabadde ku mirimu gy’okuwa obukuumi abantu b'eggwanga lya Somalia mu kaweefube w'okulwanyisa abatujju ba Al Shabaab.
Ku bantu abaagibaddemu, kwabaddeko abaserikale ba UPDF mukaaga 6 abakolako emirimu egy’enjawulo omuli; okugivuga, okukanika n'emirala omuli okuwerekera n'okuwa obukuumi abagibeeramu.
Okugwa kw’ennyonyi eno kwaleese okutabuka kw’ebyokulwanyisa ebigirimu, ekyavuddeko abantu ba bulijjo 3 abaabadde okumpi ne we yagudde okufuna ebisago eby'amaanyi n'ebizimbe ebiriraanye ekisaawe ky’ennyonyi okwonooneka.
Mu kutaasa abaagibaddemu, abakozi b'ekitongole ekidduukirira abafunye obubenje n'okuzikiza omuliro ku kisaawe ne bannaabwe okwabadde ab'ekitongole kya United Nations n'abakola omulimu gw'okutegulula bbomu baabadduukiridde.
Omugoba w’ennyonyi, omuyambi we n’omukugu mu by’ebyuma by’ennyonyi baawonye ekibambulira kino wadde nga baafunye ebisago eby'amaanyi