MINISITA w’ensonga z’abaana n’abavubuka Balam Barugahare asabye abavubuka okwewala ebikolwa eby’okweganza nga bakyali bato n’okunywa omwenge okwewala okufuna endwadde n’ebizibu ebirala ebiyinza okubalemesa okusoma.
Balam bino abyogeredde mu lukung’aana lw’abavubuka olwategekedwa obulabirizi bwa Central Busoga Diocese ku ssomero lya Iganga SS.
Minisita Balam Ng'asimba Omuti.
Asinzidde wano n’akubiriza abavubuka okwettanira enteekateeka za gavumenti ez’enjawulo omuli ylp, Emyooga, PDM n’endala okutumbula ebyenfuna byabwe n’okukozesa omutimbagano okulanga bye batunda.
Omukwanaganya w’abavubuka mu Bulabirizi, Rev. Can. Alfred Bolya ategeezezza ng’abavubuka abasoba mu 600 okuva mu bitundu eby’enjawulo mu Busoga bwe beetabye mu lukung’aana luno n’ekigendererwa ky’okubabangula mu ddiini, empiisa n’ebintu eby’enjawulo ebivaamu ssente.
Akulira essomero lya Iganga SS asabye gavumenti okubadduukirira mu kuzimba ebizimbe ebimala nti kubanga abaana bangi abeetaba mu nkung’aana nga zino wabula tebalina bizimbe Bimala.