Ekiwalirizza Baagala okuleka Mpuuga n’egenda ne Kyagulanyi

OMUBAKA Joyce Baagala omu ku ba nfanfe wa Mathias Mpuuga eyatabuka ne Bobi Wine olw’obukadde 500 yayingiddewo ku kitebe kya NUP e Kavule nga tasuubirwa n’assaayo empapula okufuna kaadi y’ekibiina addemu okwesimbawo e Mityana.

Ekiwalirizza Baagala okuleka Mpuuga n’egenda ne Kyagulanyi
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Joyce Baagala #Amawulire #Mpuuga #Kalulu

OMUBAKA Joyce Baagala omu ku ba nfanfe wa Mathias Mpuuga eyatabuka ne Bobi Wine olw’obukadde 500 yayingiddewo ku kitebe kya NUP e Kavule nga tasuubirwa n’assaayo empapula okufuna kaadi y’ekibiina addemu okwesimbawo e Mityana.

Kyagulanyi owa NUP

Kyagulanyi owa NUP

Okuva Mpuuga lwe yatabuka ne pulezidenti wa NUP, Bobi mu December 2023, Baagala abadde tatera kujjumbira bibeera ku kitebe era gye buvuddeko omumyuka wa Pulezidenti wa NUP atwala Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi bwe yali amenya amannya g’ababaka abajeemu ne Baagala yamunokolayo n’abawa omwezi gumu beetonde bwe kitaba ekyo bajja kutwalibwa nti tebakyali mu kibiina.

Wabula Baagala ebyokwetonda yagamba nti tabirinaako buzibu singa ekibiina kye ekya NUP kimulaga omusango gwe yazza gwennyini nga tanneetonda, kuba ye amanyi akyali ku mulamwa omutuufu. 

Mpuuga owa Democratic Front

Mpuuga owa Democratic Front

Bwe yamaze okwewandiisa, Baagala yategeezezza bannamawulire nti wayinza okubaawo obusonga obumulabisa ng’atali muwulize eri ekibiina kyokka ekyo tekimuggya ku mulamwa era mugumu nti bajja kuddamu okumuwa kaadi ya 2026.

Okuva ku ntandikwa waaliwo ebyogerwa nti Baagala yandyegatta ku kibiina kya Democratic Front ekya Mathias Mpuuga nga beesigama ku nkolagana yaabwe. Kyokka Baagala teyagenze mu DF, wabula yasigadde mu NUP ekya Robert Kyagulanyi amanyiddwa nti takyakwatagana na Mpuuga.

Ekimu ku kyogeza abantu nti Baagala ne Mpuuga gubasaza mu kabu, y’engeri gye yajeemera ekibiina nga kigaanye bammemba okwetaba ku mukolo gw’eyali akulira oludda oluvuganya ogwali ku kisaawe kya Kitovu Arena e Masaka ye n’agwetabako.

Baagala

Baagala

Omukolo yaguliko ne Abed Bwanika (Kimaanya-Kabonera), Juliet Kakande (mukazi/Masaka City) ne Medard Lubega Sseggona (Busiro East).

Bino byonna byagenda okubeerawo nga Bwanika ne Baagala baakamala okujeemera
ekibiina kya NUP ekyabakyusa okuva ku bifo bya ssentebe n’omumyuka wa ssentebe w’akakiiko ka Palamenti akalondoola ebisuubizo bya Gavumenti aka Government Assurances.

Baagala okuddayo ku NUP abatunuulizi b’ebyobufuzi bagamba yakibaze nga kijja kumubeerera kizibu okwetunda mu kibiina ekipya mu budde obutono.

Ekirala abawagizi ba Baagala n’obukiiko obumunoonyeza akalulu
e Mityana, abasinga ba NUP nga bw’asalawo okuva mu kibiina kiba kitegeeza bajja kusabira muntu mulala bwe bafaanaganya endowooza.

“Kisingako okusaba kaadi ne bagimumma, okusinga okugaana okugisaba kuba olwo kiba kimulaga nga kyewaggula. Ekibiina ne bwe kitaamuwe kaadi, ajja kwesimbawo ku bwa namunigina nga bwe tunnyonnyola abalonzi nti ebya kkaadi byalimu kyekubiira,” Omu ku bawagizi ba Baagala bwe yagambye.

Eno y’ensonga lwaki ne ttabamiruka w’ekibiina eyatudde gye buvuddeko Baagala yamwetabyemu wadde nga waliwo abamu abaabadde bamuwabula obutagendayo.

Abakazi basatu be bazizzaayo empapula ezisaba ekifo ky’omubaka omukazi owa disituliki y’e Mityana ku kaadi ya NUP okuli; Fausta Nalubega Bitaano ne Prossie Kalule Nabbosa. 

Wadde ng’obutakkaanya bwonna bubaddewo, Baagala azze akyogera lunye nga ye bwali owa NUP ng’aboogera ebirala byabwe.