Joyce Baagala asabye kkaadi ekijja kijje!!

ABANENE ba NUP bayuuguumizza ekitebe e Kavule nga bazzaayo empapula z’okwewandiisa okuvuganya ku bifo ebyenjawulo.

Joyce Baagala asabye kkaadi ekijja kijje!!
By Deo Gannyana
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kkaadi #Joyce Baagala

ABANENE ba NUP bayuuguumizza ekitebe e Kavule nga bazzaayo empapula z’okwewandiisa okuvuganya ku bifo ebyenjawulo.

Akulira oludda oluvuganya, Joel Ssenyonyi yazzizzaayo empapula ng’ayagala kuddamu kukiikirira Nakawa West. Yatuuse ne Waiswa Mufumbiro ayagala obubaka bwa Nakawa East gattako Ali Buken amanyiddwa nga Nubian Li ayagala obwameeya bw’e Nakawa.

Baagala.

Baagala.

Abalala kwabaddeko; munnamawulire Flavia Namulindwa agenda e Gomba East, munnabyamizannyo Isaac Mukasa ayagala e Buikwe South ne Muky. Sharifah Kironde ow’e Makindye.

Empapula z’omubaka omukazi owa Kampala omukazi, Shamim Malende zaatwaliddwa abaaliko abasibe b’azze awolereza abaagambye nti bazze kumuyiirawo omubiri nga naye bwe yabayiirawo omubiri nga bakwatiddwa.
 
Baakulembeddwa munnamateeka Daphine Kyakunzire eyannyonnyodde nti Munnamateeka munne mukosefu naye nga mwetegefu okuddamu okukulembera Bannakampala.

JOYCE BAAGALA AWEREKEDDWAKO BAKANYAMA
Omubaka Baagala (mukazi owa Mityana) mu kuzzaayo empapula yatuuse awerekerwako bakanyama. Abamu kye baatapuse nti yandiba nga yabadde alina kye yeekengera.

Okuva ku kkono; Mufumbiro, Ssenyonyi ne Nubian Lee nga batuuka ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule.

Okuva ku kkono; Mufumbiro, Ssenyonyi ne Nubian Lee nga batuuka ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule.

Olwatuuse yagenze butereevu ku mmeeza we bawandiikira n’awaayo ebimukwatako era n’akolwako mu bwangu. Yagambye nti wayinza okubaawo obusonga obumulabisa ng’atali muwulize eri ekibiina kyokka ekyo tekimuggya ku mulamwa era mugumu nti bajja kuddamu okumuwa kaadi ya 2026.

Wabula yabadde yaakavaawo ne zireeta bwe bavuganya okwabadde Faustina Nalubega Bitaano ne Prossie Mukisa Nabbosa nga nabo baagala ekifo kye kimu eky’obubaka bwa Mityana. Enduulu yavuze okuva mu bawagizi baabwe nga buli ludda luwera nti ensolo ku kizigo kweri.