GAVUMENTI yeddizza ekyapa ky’ettaka eririko okusika omuguwa wakati w’Eklezia ne famire ya nnamukadde omugenzi Maria Tereza Nakibuuka, 84.
Ettaka lino lisangibwa ku kyalo Lubanyi - Nakuwadde ku luguudo lw’e Ssentema mu Wakiso nga liwezaako yiika emu n’ekitundu ng’okusika omuguwa kuno kwaddirira
Nakibuuka okuleka ekiraamo ekikambwe eky’obutamuziika nga Klezia temaze kukomyawo kyapa kye, kye yagiteresa.
Wabula akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka ly’Eklezia ekya Kampala Archdioces Land Board, Rev. Fr. Richard Mark Ssajjabbi, mu lukung’aana lwa
bannamawulire lwe yatuuza e Lubaga ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde yategeeza ng’ettaka lino Nakibuuka bwe yaliwa Bannaggye ya Biikira Maria era nga kuno
Abayima b’Eklezia kwe basinziira okulikyusa okulizza mu mannya g’Ekezia abaffamire ya Nakibuuka kye bawakanya.
Embeera eno yawalirizza aba ffamire okwekubira enduulu mu kakiiko ka State House Land Protection Unit akulirwa Brig. Moses Lukyamuzi akaayingidde mu nsonga zino ekyawalirizza Eklezia okuwaayo ekyapa.
Eggulo (Lwakubiri), Brig. Lukyamuzi n’abakakiiko ke baagenze e Nakuwadde ne banjulira abaffamire ya Nakibuuka ekyapa kye yateresa Eklezia era n’abasaba okugenda mu maaso n’enteekateeka z’okuziika ng’oluvannyuma baakuyita enjuyi zombi okwogera ku nsonga z’ettaka lino.
Ono yakwasizza aba ffamiire amabugo ga bukadde 10, ezaabaweereddwa Pulezidenti Museveni okubayambako mu nteekateeka z’okuziika era n’abasaba okusigala
nga bakkakkamu.
Katikkiro w’Ekika kya Namungoona, Richard Luswata Musajjaakaawa yasoose kwanjulira ab’akakiiko kano engeri omukadde Nakibuuka gye yafuna obuvunaanyizibwa bw’okulabirira ettaka lino era n’addamu okukikkaatiriza nga bw’ataliwanga ku Eklezia.
Yagambye nti ne mu kiraamo ky’omugenzi ky’alina yalambika bulungi nti Eklezia tagiwanga ku ttaka okuggyako okugiteresa nga yeewuunya gye baggya obuyinza
okukyusa ekyapa ne bakizza mu mannya g’Abayima b’Eklezia.
Yeebazizza Brig. Lukyamuzi olw’okusitukiramu nga bamutuukiridde ne Pulezidenti Museveni olw’okussaawo akakiiko kano n’okubawa amabugo era ne
Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere olw’okulagira akakiiko k’ebyettaka okuwaayo ekyapa kino.
Musajjaakaawa yagambye nti baatandikiddewo okukola ku nteekateeka z’okuziika kyokka n’asaba Gavumenti okubawa obukuumi okutuusa ng’ekyapa kino kibaddidde.
Yayanjulidde abooluganda, abatuuze n’abaakakiiko ka Lukyamuzi,trick Biseera, Nakibuuka gwe yalaama okulabirira ettaka lino era e yakwasiddwa n’amabugo