ABANTU 6 be baakeesowolayo nga basaba abamu ku basunsuddwa okuvuganya mu kamyufu ka NRM ku bifo by'ababaka ba Palamenti okuwanduukululwa.
Kino kiddiride okutuukirira akakiiko ka NRM ak'ebyokulonda ne babaloopera nti abakulembeze abo balina ebiwandiiko by'obuyigirize ebijingirire ate abamu nti bazzi ba misango tebagwanidde ku kulembera bantu .
Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala akulira akakiiko ka NRM ak'ebyokulonda Dr. Tanga Odoi yategeezezza nti kino kibawalirizza okuteekawo akakiiko ak'enkizo akagenda okukulirwa bannamateeka baabwe okuwulira okwemulugunya kwonna okunabeera kuleeteddwa ku beesowoddeyo okuvuganya mu kamyufu era bino bye bajja okwesigamako okuwanduukulula be gunakka mu vvi.
Tanga yakkaatirizza nti oli ne bw'anaaba ayiseewo mu kamyufu naye ne kizuulwa nti emabega we waliyo vvulugu, obuwanguzi bwe baakubusazaamu.
Mu kiseera kino nga okusunsulamu abanaakwatira NRM bbendera mu kulonda kwa bonna okwa 2026 kukyagenda mu maaso, abeegwanyiza ebifo by'obukulembeze nga balina ebiwandiiko by'obuyigirize ebitaterede bulungi baweereddwa amagezi okubitereeza nga bukyali.
Mu nteekateka eno era kikakasidwa nti abantu abasoba mu 7 be bayiseewo obutereevu nga tebavuganyizidwa nga kino bakyesigamiza ku nsonga za mirundi ebiri okuli okukkaanya n'ababadde babesimbyeko so nga ate abamu mu bitundu gye beegwanyiza abalonzi babamatira era be baasazeewo bakwasibwa bbendera .
Abamu ku baayiseewo nga tebavuganyiziddwa mu kiseera kino kuliko Sipiika wa palamenti; Annet Anita Among, nnampala wa gavumenti mu palamenti, Hamson Obua , omubaka akiikirira abavubuka mu mambuka g'eggwanga, Boniface Henry Okot n'abalala.
Elizabeth Salabwa yasunsudwa okuvuganya ku kifo ky'omubaka owa Bamunanika mukamyufu k'ekibiina Kya NRM bweyabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala)
Olunaku olw'okusatu olw'okusunsulamu abeegwanyiza ebifo by'obukulembeze we lwaggwereddeko nga abakunukkiriza mu 1000 be baakasunsulwa era abanene mu NRM okusingira ddala baminista baalabidwako mu bungi nga bazzeemu okukakasibwa okuddamu okuvuganya ku bifo ebyenjawulo.
So nga ate n'abapya bangi abeesowoddeyo okuvuganya abanene okuli Yasin Kironde ku kya Mawogola South , Elizabeth Salabwa ku kifo ky'omubaka owa Bamunanika n'abalala.
Abanene abaakasunsulwa kuliko; Kattikiro wa Uganda, Robina Nabbanja ku kifo ky'omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Kakumiro , minisita w'ebyensimbi Matia Kasaija ku kifo ky'omubaka owa Buyanja County mu disitulikiti ya Kibaale , minista ow'ensonga z'omunda Kahinda Otafiire ku kifo ky'omubaka owa Ruhinda County , minista ow'ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng ku kifo ky'omubaka omukyala owa distulikitti y'e Lira n'abalala.
Minisita Otafiire yategeezeza nti ekisanja ekiddako singa anaabeera ayiseemu kitegeeza we kinaggweerako ajja kuba awezezza emyaka 80 era asuubira amaanyi gayinza okuba nga gamukendedde nga n'omubiri gunafuye olw'emyaka ekiyinza okumuleetera ekirowoozo ky'obutaddamu kwesimbawo yadde nga akyakirowoozako bulowooza mu kiseera kino .
Mu lwokaano luno era n'abaliko ababaka mu bisanja ebyayita ne bagwa mu kalulu nabo baalabiddwaako nga bakomyawo empapula baddemu okugezesa ku mikisa gyabwe .
Enteekateka eno yaakukomekereza nga 30 June 2025 .