OMWAWULE avumiridde Abaganda abeetunzeeko ettaka okulyemalako n'agamba nti banaayitibwa batya abattaka nga bakaddiye ku byalo nga tebakyalina yadde ebyapa!
"Tuyimba tutya Buganda ku Ntikko nga twetundako ettaka? Omutaka ku kyalo ekimuyisa omutaka kwe kuba ng'agundidde ku kitundu nga alina ekyapa ky'ettaka lye, naye mulyetundako buli olukya, muguze pikipiki mwebale.
Mu Buganda Ssabasajja ye Ssaabattaka, ab'oku byalo bayitibwa abataka lwakuba babeera n'ebyapa by'ettaka kwe batudde naye abatunze mukoze bubi nnyo!
Tunazza tutya Buganda ku ntikko nga tetukyalina businziiro? Mwagale ebyammwe nga mubikuuma n'okubyagazisa abalala," bwatyo Rev. Esawu Bbosa Kimanje okuva e Namugongo bwe yategeezezza.
Rev Kimanje yabadde mu kusabira abasika mu nnyimbe esatu ezaagatiddwa okuli; olwa Alice Bukirwa, Namakula n'olwa Nakisanze nga zabadde Kyankima-Kasangati, ng'ayambibwako omubuulizi w'ekitundu Benard Ayebazibwe ne Rev. Nooh Ntume.
Yavumiridde n'abavvoola okwabya ennyimbe be yayogeddeko ng'abamanyi akatono bwe beegeziwaza, kwe kubajjukiza nti n'ebyawandiikibwa byogera ku busika era n'akkaatiriza nti okwabya enyimbe Abaganda bakikozesa okumanyaganiramu, n'okulaga oyo addidde eyafa mu bigere atwale obuvunaanyizibwa bwe.
Alice Bukirwa Mulyanga yeyali Maama wa ssentebe w'e kyalo Kyankima-Kasangati Edward Musoke Mulyanga.
Alice Bukirwa Mulyanga yeyali Maama wa Ssentebe w'e Kyalo Kyankima-Kasangati Edward Musoke Mulyanga