OMUSUMBA amaze mu buweereza emyaka 20, akubirizza banne okussa ekitiibwa mu bibasomesebwa ekkanisa ya Shincheonji n'agamba nti basaana kusooka okuwuliriza ebisomesebwa n'oluvannyuma bakole okusalawo okutuufu.
Ssentebe w'ekkanisa eno erina ekitebe kyayo e South Korea, Lee Man-hee agambye nti abakkiriza balina okubeera abeetowaze ng'abaana oluvannyuma beesigamye okukkiriza kwabwe ku bisomesebwa mu Bayibuli.
Asinzidde mu Shincheonji Masan Church ku musomo ogulungamya ku okubikkulirwa okulambikibwa Bayibuli ogwetabiddwamu Bapaasita abasoba mu 100 n'abantu abalala abaweze 16,000.
Abalala 380,000 babadde ku mikutu egy'enjawulo ku yintanenti nga bagoberera omusomo n'okuyiga.
Omusomo omulala ogufaanana bweguti gwakubeerawo September 29 e Busan. Egyasooka omwaka guno gyaliwo mu January.
Baasooka kubeera mu kkanisa wabula abantu ne beemulugunya ng'ekifo tekibamala kwekusalawo okutandika okuguteeka ku mikutu gy'omutimbagano nga YouTube.
Omusomo Lee gwe yawadde yagwesigamizza mu Kubikkulirwa essuula 10, ng'alambika ebiri mu bunabbi n'okubituukiriza. Yakikoze wakati mu kumukubira engalo n'enduulu ey'okuleekeleeke.
Yabategeezezza nti ekkubo erigenda mu Ggulu ffunda era omuntu okwatula nti okkiriza Yesu tekimala wabula okwefumiitiriza ku bigambo bye n'okubitegeera.
Paasita omu eyakoze endagaano n'ekkkanisa ya Shincheonji, yagambye nti kibeera kikulu okuwulira obutereevu ekigambo ne weesalirawo era okusigaza empuliziganya kya nkizo.
Paasita omulala amaze mu buweereza emyaka 15, yeewuunyizza ssentebe Lee okubeera ng'akyasobola okubuulira okumala essaawa nnamba.
Olw'okuyayaana kuno mu kitundu kya Yeongnam, ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus we yasinzidde okutegeka omusomo omulala nga 29.
Eyakiikiridde ekkanisa yagambye kibawa amaanyi okulaba nga Bapaasita bafuna okubikkulirwa ne bongera okuyayaanira okumanya.
Baakwongera okunyweza enkolagana n'okubunyisa enjiri ey'engeri eno mu kiseera ekiddako.
We tutuukidde ku nkomerero y'omwezi oguwedde ng'ekkanisa 727 zimaze okuteeka omukono ku ndagaano eziyunga ku kukolagana ne Shincheonji Church.
Ekknaisa 10,053 mu mawanga 84 okwetoloola ensi ze zeegasse ku nteekateeka eno.