Bino byabadde mu kibuga Cheongju e South Korea ku Ssande ng’abakkiriza mu kkanisa ya Shincheonji Church of Jesus, baaniriza ssentebe waayo Lee Man-hee.
Lee yabadde afundikira ezimu ku ntambula zaakoze okwetoloola ekkanisa ez’enjawulo omwaka 2024 mw’alambulidde ekitundutundu ku nsi.
Omukolo gwabaddeko abantu 80,000, Bapasita abasoba mu 100 okuva mu makanisa gannansangwa ag’enjawulo nga bayayaanira okuwuliriza ekigambo kya Lee ng’abuulira enjiri ey’okubikkulirwa.
Bano baakungaanidde ku kkanisa ya Cheongju Church of the Matthias Tribe ne beegattibwako abalala okuva mu makanisa agali mu bitundu eby’esudde.
Ssentebe w'ekkanisa , Lee Man-hee
Okusaba ku lunaku lwe lumu kwakwataganye n’ebijaguzo by’ekkanisa ya Cheongju Church ng’eweza emyaka 30. Beebazizza Lee olw’okubawa entaputa entuufu mu byawandiikibwa naddala ebiri mu kubikkulirwa.
Baategeezezza nti bingi baludde nga babisoma kyokka nga tebafuna ntaputa yaabyo ntuufu nga bwe yakoze.
Ssentebe Lee yabaanukudde nga yewuunya ngeri ki omuntu gy’ayinza okwebazaamu Katonda olw’okubawa okumanya n’okutegeera entaputa eri mu kubikkulirwa okubaddewo emyaka 600 nga tewali muntu yenna akutegeera!
Yayongeddeko nti ensi eno gy’olaba bwe bulamu anyweza okukkiriza okuli mu kubikkulirwa yaasobola okunyweza enkolagana
Yagambye nti eky’enjawulo abantu kye balina ku mulembe guno kwekubeera nga basobola okufuna okunnyonnyolwa ku kubikkulirwa ate ne bateeka mu nkola ebyo bye balabako.
Lee aggumiza obukulu bw’okubikkulirwa okuva ekkanisa ya Shincheonji Church lwe yatandikibwawo.
Omwaka 2014 gwokka yatalaaga ekkanisa 40 munda mu South Korea n’ebweru w’eggwanga eryo ng’agabana n’abantu ab’enjawulo obubaka obuli mu kubikkulirwa.
Abamu ku bantu be yasanga mu kkanisa ya Presbyterian church nga bamazeeyo emyaka 30 baanyonnyodde nti baali tebafunangako kusomesebwa okukwata ku kubikkulirwa nga Lee bwe yakoze.
Ebibala ebivudde mu kaweefube wa Lee okutalaaga amawanga, abantu 100,000 batendekeddwa ne bafuna satifikeeti ne babatikkira.
Okunoonyereza okwakoleddwa aba Pastoral Data Research Institute wakati wa September 2023 ne leero ku bavubuka abawezezza emyaka 18 abawera ebitundu 65 ku 100 mu South Korea balina ennyonta mu kukkiriza.
Abalala ebitundu 55 ku 100 bagamba nti Abasumba baabwe bandibadde babakolera enteekateeka okubasomesa ebyawandiikibwa mu nteekateeka ya Biblical education of Korea.
Obweraliikirivu obuliro mu bagoberezi ba Kristo mu ggwanga lya Korea kwekubeera nti buli olukya omuwendo gw’abavubuka abali mu nzikiriza yaabwe gukendeera.
Omu ku bakkiriza mu kkanisa ya Shincheonji Church of Jesus, yagambye nti buno bwe buvunaanyizibwa obwaleeta Lee okulaba ng’azza emyoyo gy’abantu engulu.