HWPL ejaguza emyaka 10 ng'ebunyisa enjiri ey'emirembe mu mawanga 170

Ebijaguzo ebikulu biri mu South Korea kyokka ne mu mawanga amalala 122 bikwajja.

HWPL ejaguza emyaka 10 ng'ebunyisa enjiri ey'emirembe mu mawanga 170
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Ebijaguzo ebikulu biri mu South Korea kyokka ne mu mawanga amalala 122 bikwajja.

Bino bitandise nga September 18, 2024 n'olungaana gaggadde mu South Korea ku mulamwa nti; Okutondawo emirembe okwetoloola ensi kuyita mu kwegatta kw'amawanga.

HWPL egambye nti ekigendererwa gy'ebijaguzo bino kwekuyita mu bituukiddwako okuva 2014 n'okusobola okutema empenda ku birina okukolebwa ekiseera ekijja.

Olukung'aana luno lutunuulidde abakulembeze ab'enjawulo ne bannansi be bakulembera abakoleredde okuteekawo emirembe okulaba nga babongera amaanyi okukituukiriza.

Ekitebe ekikulu ekya, Heavenly Culture, World Peace, Restoration of Light (HWPL) kisangibwa Seoul, South Korea. Kino kibiina kya bwannakyewa ekiri ku ddaala ly'ensi yonna.

Kyekuusa ku kibiina ky'amawanga amagatte (UN ECOSOC). Emyaka 10 gye bamaze nga batakabanira emirembe kati baweza bammemba 500,000 mu mawanga 170.

Bakoze endagaano ez'enjawulo okunyweza emirembe n'ebitongole 1,014 mu mawanga 105.

Ssentebe wa HWPL,  Lee Man-hee yagambye nti obutabanguko buvudde obulamu bw'abantu ab'enjawulo okutokomoka n'akiggumiza nti eddiini eteekwa okukulembera mu nsonga ez'enjawulo.

Okulaba nga wabeerawo okwogerezeganya n'okukkalabya ku nsonga ez'enjawulo.

“Tulina okukolera awamu okutondawo ensi ebukadde emirembe kiteekewo omukululo ogulirabibwa bazzukulu baffe mu biseera ebijja,” Lee bw'aggumizza.

Agamba nti kino kyakuyamba okutuukiriza ekiruubirira kyabwe okulaba ng'ensi efuuka ekyalo kimu okuyita mu kwagala n'emirembe.

Ebibiina n'ebitongole, HWPL by'ezze ekwatagana nabyo kuliko omukago gwa G7 ne Latin American Parliament (Parlatino) okuleeta enkulaakulana n'okwegatta mu mawanga 20.

Polo. Dr. Emil Constantinescu, pulezidenti wa Romania ow'okusatu yajjukiizza abeetabye mu lukungaana nti kano kabonero akalaga nti abantu bannyikidde okugoberera amakubo ag’emirembe okugonjoola obutakkaanya.

Mu Uganda olunaku lwakukuzibwa September 28, 2024 e Makerere. Lwakukuzibwa mu nteekateeka y'okunyweza obumu mu kutaasa obutonde, ebyobufuzi n'eddiini.