PULEZIDENTI Museveni ayingidde olunaku olwokusatu ng’awenja akalulu mu bitundu bya West Nile era leero ku Mmande waakutalaaga disitulikiti y’e Madi, Arua ne Arua City.
Museveni yali yakoma okukuba kampeyini ku Lwomukaaga mu disitulikiti y’e Nebbi ne Zombo ng’eno yeegattibwako mukyala we Janet Museveni eyakunze abalonzi, essira baliteeke ku kulonda omukulembeze anaakuuma emirembe n’obutebenkevu bw’eggwanga.
Muky. Janet Museveni, ye yasoose okukwata akazindaalo n’abasaba obutazannyisa mirembe egiriwo mu ggwanga kuba lyaleetebwa abantu abeerekereza eby’ensi ne balwanirira ensi yaabwe mu myaka gyabwe egy’obuvubuka.
Olukuhhaana lwabadde mu kibangirizi ky’essomero lya Namrwodho Primary awaakuhhaanidde nnamungi w’abawagizi be abaamwanirizza mu mizira. Museveni yabasuubizza okubakolera oluguudo olwa Nebbi - Goli nga luno okusinga lwe lutambuzibwako ebyamaguzi okuva mu Uganda okutuuka ku nsalo ya Congo. Yabagambye nti, gavumenti ye, ekoze enguudo nnyingi nga ngazi ate nga mpanvu nti, era tayinza kulemwa kukola luguudo lwa Nebbi - Goli oluweza kiromita 16 zokka so ng’ate bagenda kuteeka n’essira ku kuddaabiriza enguudo z’ettaka eziri mu kitundu kino nga bwe bakyalinda ssente ezizikolera ddala.
“Tujja kusooka na kuzimba oluguudo lwa Nebbi - Zombo era mu April 2026 lwe tujja okuteeka emikono ku ndagaano ne bakontulakita ate olwo tuzzeeko olwa Nebbi - Vvula,” Museveni bwe yagambye.
Yajjukizza abantu b’e Nebbi wa gy’aggye eggwanga okulituusa ku butebenkevu bwe liriko. “Mu biseera bya Amin, abajaasbangi abattibwa olw’amawanga,” Museveni bwe yagambye. Yagambye nti, abantu ba West Nile basaanye bamujjulire ku nsonga y’emirembe mu ggwanga kuba be bamu ku baakosebwa ennyo entalo era bangi baali baawahhangukira mu mawanga ag’omuliraano.
Nebbi erina amasomero ga gavumenti aga pulayimale 89, siniya 8 wabula emiruka 22 tegirina masomero era Pulezidenti agamba ky’agenda okusimbako essira singa bamuzza mu buyinza.
Disitulikiti ya Nebbi yaakafuna ssente za PDM ezisoba mu buwumbi 18 eziganyudde amaka 20,093 n’aba disitulikiti ya Zombo nabo baafuna ssente za PDM ezisoba mu buwumbi 18 nga ziganyudde amaka 18,646.
Minisita Phiona Nyamutoro era nga y’akutte bbendera y’ekibiina okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Nebbi yategeezezza nti, mu kitundu kyabwe, Museveni basaanye bamulonde ng’emu ku ngeri ey’okumusiima olw’ebirungi by’abakoledde era baafuna ne minisita (ye mwennyini