KKAMPUNI za Bannayuganda 100 ze ziweereddwa kontulakiti ezibalirirwamu obukadde bwa doola za America 10 ku bikwatagana n’okusima amafuta. Kino kitegeeza nti emikisa gya Bannayuganda okukola ssente mu pulojekiti eno weegiri.
Bino byayogeddwa Xiong Min, omumyuka wa pulezidenti w’ekibiina ekifuga kkampuni y’Abachina eya China National Offshore Oil Corporation (CNOOC) eyaweebwa omulimu gw’okusima amafuta mu bitundu bye Bunyoro.
Xiong yagambye nti Bannayuganda baatandise dda okufuna ebibala by’amafuta kuba bamaze okutendeka bannansi abawera 165 era balina obukugu obukola emirimu egyenjawulo.
Byabadde ku mukolo Pulezidenti Museveni kwe yatongolezza omulimu gw’okutandika okusima enzizi z’amafuta e Kikuube mu Bunyoro n’agumya Bannayuganda ng’omulimu gw’okutandika okugaggyayo bwe gujja okutandika mu 2025.
Pulezidenti yagambye nti omulimu gutambula bulungi wadde nga waliwo abaali boogerera obubi eby’okuzimba omudumu gw’amafuta kye yagambye nti tebiyinza kumuggya ku mulamwa.
Kyokka yatenderezza Gavumenti ya Bufalansa kuba teyabawulirako nga boogerera omudumu guno obubi ng’amawanga amalala.
Pulezidenti yayozaayozezza buli muntu alina ky’akoze ku mulimu guno, kuba Abangereza be baasooka okuganoonyerezaako okutuuka mu 1956.
Museveni yagambye nti ayagala okulaba ng’omudumu ogutambuza amafuta guzimbibwa okugatwala e Tanzania ate wabeerewo n’omulala ogukomyawo ggaasi mu Uganda.
Bannayuganda yabawadde amagezi okweteekateeka mu budde okusobola okuganyulwa mu mafuta gano nga bakola emirimu ng’okulima emmere kuba akatale kaayo kagenda kweyongera olwa bamusigansimbi abagenda okweyongera.
Pulezidenti yazzeemu okujjukiza Bannayuganda beewale okwesenza ku ttaka ly’ebibira n’agamba nti agenda kuwalirizibwa okusindika bambega babakwate.
UGANDA YAAKUFUNA DOOLA ZA AMERICA 360 BULI MWAKA
Ku bbeeyi y’amafuta eya doola za America 87.5 ku buli kipipa, omulimu gw’okuzimba amafuta ge Bunyoro gubeera gujja kuyingiza ssente eziwera ebitundu 15 ku 100 ku ssente zonna eziva mu mafuta. Gavumenti esuubira okukuhhaanya obuwumbi bwa doola za America 6.9 awamu.
Buli mwaka Uganda ejja kuba eyingiza obukadde bwa doola za America 360.
Omulimu gw’okusima amafuta gwakwasibwa kkampuni ya China National Offshore Oil Corporation (CNOOC). Ekitundu kye basimamu ekya The Kingfisher Development Area kirimu enzizi 31 ezisuubirwa okuvaamu amafuta.
Omubaka wa China mu Uganda, Zhang Lizhong yasinzidde ku mukolo guno n’asiima Pulezidenti Museveni olw’amaanyi g’atadde mu mulimu gw’okusima amafuta. Ono yamuwadde ekirabo n’amwebaza olw’enkolagana ennungi ey’amawanga gombi.
Yagasseeko nti kaweefube wa Pulezidenti Museveni ow’okukulaakulanya eggwanga n’ekitundu ky’obuvanjuba bwa Africa kisikirizza bamusigansimbi bangi okujja mu ggwanga. Kino kivudde ku mbeera ennungi eri mu ggwanga.
Minisita avunaanyizibwa ku by’amasannyalaze n’obugagga obw’ensibo, Ruth Nankabirwa yakwasizza kkampuni ya East African Crude Oil Pipeline Limited layisinsi ebakkiriza okuzimba omudumu gw’amafuta oguva e Hoima okugenda e Tanga mu Tanzania.
Omukolo gwetabiddwaako omumyuka wa Pulezidenti Jessica Alupo, baminisita okuli; oweebyensimbi Matia Kasaija, ow’obutebenkevu Jim Muhwezi, ow’ebyassaayansi Dr. Monica Musenero.
Ababaka abava mu bitundu omusimwa amafuta abaakulembeddwa Francis Kazini (Buhaguzi) baasabye Pulezidenti akole ku bizibu ebibasoomooza okuli; ekibbattaka, ebbula ly’amalwaliro, obutaba na masomero, enguudo embi n’ebbula ly’amasannyalaze.
Dismus Songa, ssentebe wa LC 1 owa A Village ekisangibwa mu muluka gwe Buhuka mu disitulikiti ye Kikuube eyayogedde ku lw’abakulembeze abasookerwako, yasabye Pulezidenti abazimbire essomero mu kitundu kuba abaana batindigga ehhendo mpanvu.
Pulezidenti yalagidde baminisita abakwatibwako okukola ku bizibu bino abatuuze basobole okuganyulwa mu mafuta agasimwa mu kitundu kyabwe.
Ssentebe wa disitulikiti ye Kikuube, Peter Banura yatenderezza eky’okubazimbira ekisaawe ky’ennyonyi mu kitundu kye yayogeddeko ng’ekigenda okutumbula ebyobulambuzi ne bizinensi y’okulima amajaani mu kitundu.
Pulojekiti y’okusima amafuta esuubirwa okuwemmenta ssente ezisukka obuwumbi obubiri obwa doola za America mu myaka esatu eginaddirira. Ate okusima amafuta bwe kunaatandika oluvannyuma ejja kutwala akawumbi kamu n’obukadde 630 obwa doola za America mu myaka 20 gye banaamala nga basima amafuta.
Mu kiseera kino abantu bangi baatandika dda okufuna emirimu egiva mu mafuta okuli abazimbi n’abatunda ebyokulya. Obwetaavu bw’abakozi bugenda kweyongera nnyo mu kiseera ky’okuzimba omudumu ogutambuza amafuta.