Museveni atongozza ekkung'aanyizo ly’amasannyalaze

PULEZIDENTI Museveni atongozza ekkung'aanyizo ly’amasanyalaze mu disitulikiti y’e Kabale n’asuubiza nti lyakuyamba okutondawo emirimu mu kitundu.

Museveni ng'atuuka e Kabale okutongoza ekkung'aanyizo ly'amasannyalaze.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni atongozza ekkung'aanyizo ly’amasanyalaze mu disitulikiti y’e Kabale n’asuubiza nti lyakuyamba okutondawo emirimu mu kitundu.
Ekkung'aanyizo lino lisangibwa ku kyalo Hamuko mu disitulikiti y’e Rubanda era nga yalitongolezzaako ne layini y’amasannyalaze eya Mirama – Kabale. Museveni yagambye nti amasannyalaze gano gagenda kuyamba ekitundu ky’e Kigezi
 okukulaakulana, olw’amakolero agagenda okuyitimuka nga gongera omutindo ku byobugagga by’omu ttaka ebiriyo.
Ekitundu kino kirimu ekyobugagga ekya Iron Ore, ekikozesebwa okufulumya ebyuma
ebya 'sitiiru' era Museveni agamba nti babadde bagezaak  ulijjo okuteekayo amakolero ag’amaanyi, kyokka nga bayinvesita beemulugunya ku masanyalaze amatono, ekintu ky’amaze okunogera eddagala.
Layini y’amasannyalaze n’ekkung'aanyizo ebyatongozeddwa, bigenda kugaba amasannyalaze mu bitundu okuli; Ntungamo, Rukiga, Kabale ne Rubanda, nga lyavujjiriddwa Islamic Development Bank. Museveni eyabadde alambula abantu abaaganyuddwa mu nteekateeka ya PDM, yalaze obukulu bw’okukuuma obutonde bw’ensi naddala entobazzi, ze yagambye nti ziyamba nnyo mu kutereka amazzi agakozesebwa okukola amasannyalaze.
Minisita w’ebyamasannyalaze n’ebyobugagga eby’omu ttaka, Ruth Nankabirwa yagambye nti amasannyalaze gano tegagenda kuyamba makolero gokka, wabula gagenda na kukozesebwa abantu ba bulijjo okusobola okwongera omutindo ku bye balima, basobole
okuganyulwa mu nteekateeka ya PDM.