OMU ku beesimbyewo okuvuganya ku kifo kya meeya e Iganga, akwatiddwa poliisi n'abantu abalala ku bigambibwa nti benyigidde mu kuyonja ekibuga nga tebawereddwa lukusa.
Muhammad Kafuko y'akwatiddwa okuva ku Old Total Petrol Station Nkono two village e Iganga, ng'ali n'abantu abagambibwa okuba abawagizi b'ekibiina kya NUP mu ngoye emyufu bwe baabadde bayera n'okuyonja ekibuga .
Kigambibwa nti yakunze abaana n'abantu abawerako okuyonja ekibuga nga kino, kyawalirizza poliisi okubayimiriza nti kyokka ne wabaawo okusika omugwa wakati mu kukuba amasasi mu bbanga , kwe kukwatako abamu nga ne Kafuko emutwaliddemu.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kafayo, agambye nti babaguddeko omusango gw'okweyisa ng'ekitagasa