Aba Boda boda bakkakkanya ku agambibwa okubeera omubbi ne bamukuba ne bamutta

ABAVUZI ba bodaboda ababadde batasalikako musale, bakakkanye ku musajja  agambibwa okuba omubbi wa pikipiki ne bamukuba ne bamutta

Aba Boda boda bakkakkanya ku agambibwa okubeera omubbi ne bamukuba ne bamutta
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ABAVUZI ba bodaboda ababadde batasalikako musale, bakakkanye ku musajja  agambibwa okuba omubbi wa pikipiki ne bamukuba ne bamutta.

Attiddwa ye Andrew Muteesa omutuuze w'e Nkiro e Kaliro mu disitulikiti y'e Lyantonde bwe bafumbikiririzza e  Magamaga mu Ggombolola y'e Mbogwe mu disituliti y'e Mayuge, ne bamukuba ne bamutta , n'oluvannyuma ne baggyawo pikipiki ne babulawo emisana ttuku.

Kigambibwa nti omusajja ono, yasoose kubba boda boda wakati mu kulumya Kiyimba agambibwa nti yamukubye ennyondo ku mutwe e Lugolole  nti n'abulawo ne pikipiki ng'ayitira e Musiita ku Mulungirire rd.

Kyategeezeddwa nti bamugoberedde ne bamugwikiriza e Magamaga ne bamukuba ne bamutta. Ye gwe bakubye ennyondo, kigambibwa nti ali mu kujanjabibwa mu ddwaaliro  e Musita.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kafayo , agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mayuge ng'okubuuliriza kugenda mu maaso