Bya Henry Nsubuga ne Madina Ssebyala
Omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asiimye obuweereza bw’Ababiikira aba Little Sisters of St. Francis of Assisi bwe baabadde bajaguza emyaka 100 bukya kibiina kyabwe kitandikibwawo.
Agambye nti Ababiikira bano bakoze nnyo okutumbula ebyobulamu by’eggwanga nga bayita mu kuzimba amalwaliro n’ebyenjigiriza nga bazimba amasomero.
Obubaka buno bwetikkiddwa omumyuka we, Rtd. Maj. Jessica Alupo eyamukiikiridde ku mukolo ogwabadde ku kitebe kyabwe e Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Buikwe ku Ssande.
Ababiikira Aba Little Sisters Of St
Emikolo gyatandise n’Ekitambiro kya Mmisa ekyakulembeddwa omubaka wa Paapa mu Uganda, Ssaabasumba Luigi Bianco ng’ayambibwako Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemwogerere, omusumba w’essaza ly’e Lugazi, Bp. Christopher Kakooza, omusumba w’essaza ly’e Soroti, Bp. Dr. Joseph Ediru n’omusumba w’e Lugazi eyawummula, Mathias Ssekamanya.
Museveni yasabye Bannaddiini mu njiri yaabwe bulijjo okukubirizanga Abakkiriza era abagoberezi baabwe okukola ennyo okusobola okweggya mu bwavu, baleme kukoma ku kusaba mu masinzizo kyokka ng'ekyokulya kibeekubya mpi.
Ekifaananyi Kya Maama Kevina Eyatandika Ekibiina Ky’ababiikira Ekya Little Sisters Of St. Francis
“Mutwale ekyokulabirako ekya Yezu, naye yali mubazzi, kati ggwe bw’omugoberera ate nga toyagala kukola olwo oba ovudde ku mulamwa,” bwe yategeezezza.
Yagambye nti ng’eggwanga, lifubye okuteekawo enteekateeka eziggya abantu mu bwavu omuli n’enteekateeka mwe bayita okugaba ensimbi ez’okwekulaakulanya nga PDM, okukola enguudo la okusobozesa abakozi okutambuza eby’amaguzi byabwe.
Nnankulu w’ekibiina kino, Sr. Ritah Christine Nakitende yagambye nti kyatandikibwawo Maama Kevina nga May 1, 1923, nga mu bimu ku bye yakola mwalimu okutandika eddwaaliro lya St. Francis Nsambya, St. Francis Naggalama, St. Francis Nkokonjeru, Buluuba, Nyenga n’amalala.
Sr. Nakitende era yagambye nti Maama Kevina era yatandika n’amasomero okuli; St. Agnes Girls P/S Naggalama, Mt. St. Mary’s College Namagunga, St. Theresa Namagunga Girls P/S, Stella Maris Girls Boarding P/S Nsuube, Uganda Martyrs Namilyango Junior Boys P/S, St. Francis Madela erya bamuzibe erisangibwa e Soroti, Sancta Maria PTC e Nkokonjeru, n’amalala.
Ng’ayigiriza, Omubaka wa Paapa Bianco naye yatenderezza Ababiikira olw’obuweereza obututte mu maaso emirimu gya Maama Kevina emyaka 100 nga tebaddirira.
Omubaka wa palamenti owa Buikwe, South, Dr. Micheal Lulume Bayiga yaloopedde Pulezidenti Museveni abakambwe nga n’abasinga beesoma nga bwe bali mu gavumenti era nga bakozesa n’okukuumibwa ab’emmundu, be yagambye nti basusse okuliisa Ababiikira akakanja nga bwe babanyagako ettaka ate nga ne bwe beekubira enduulu mu kkooti bakkaanya kutambula nga tebafuna kuyambibwa.
Mu kwanukula, Alupo yagambye nti akageri gye kiri nti ensonga zino yabadde yaakazitegeera, yabadde waakuzitegeeza omukulembeze w’eggwanga amangu ddala ng’akomyewo okuva ku bugenyi bw’aliko mu nsi y’e Burundi era n’akakasa nti baakufuna obuyambi.
Museveni yadduukiridde Ababiikira n’ensimbi obukadde 60 ez’obuliwo nga zino Alupo yazikwasizza Sr. Nakitende n’omumyuka we Sr. Seraphine Amuleni.
Alupo era yatongozezza omulimu gw’okuzimba ekizimbe ggaggadde ekigenda okubeerako ebisenge eby’enjawulo 100 nga bino bigenda kubeera nnyumba z’Ababiikira okuli n’abo abakaddiwa abalabirirwa.
Sr. Nakitende yagambye nti ekizimbe kino kigenda kuwemmenta obuwumbi mwenda nga baakakozesaako obuwumbi bubiri.