Munnamateeka wa NUP Ssegona agamba ebya bbomu tebigenda kubayimiriza kukola nkungaana zaabwe

MUNNAMATEEKA wa National Unity Platform era nga ye mubaka wa Busiro East, Medard Ssegona alabudde ebitongole by'ebyokwerinda obuteekwekwa mu bulumbaganyi bwa bbomu enjigirire obuliwo mu kadde kano okuyimiriza enkungaana z’ekibiina ezigenda maaso mu ggwanga.

Munnamateeka wa NUP Medard Ssegona.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Ssegona #bbomu #NUP #kubayimiriza

Bya Edith Namayanja  

MUNNAMATEEKA wa National Unity Platform era nga ye mubaka wa Busiro East, Medard Ssegona alabudde ebitongole by'ebyokwerinda obuteekwekwa mu bulumbaganyi bwa bbomu enjigirire obuliwo mu kadde kano okuyimiriza enkungaana z’ekibiina ezigenda maaso mu ggwanga..

Bino webijjidde ng'eggulo waliwo bbomu poliisi ze yateguludde ng' emu yabadde bweru wa kkanisa ya Paasita Robert Kayanja e Lubaga nga ne leero abatuuze b’e Nateete bakeeredde mu bunkenke lwa zi bbomu.

Ssegona agambye nti yeewuunya okuba nti ebya bbomu bizzeemu mu kadde nga bannakibiina kya NUP bateekateeka okukuba enkungaana zaabwe mu bitundu bya Buganda wiiki eno.

Wabula alabudde bannansi okubeera obulindaala era n'agamba nti yadde nga bino byonna weebiri tebagenda kuyimiriza nkungaana zaabwe.