SIPIIKA wa palamenti, Anita Among alagidde minisitule y’ebyobulamu okujja erambike eggwanga ku kirwadde kya Mpox okumanya butya abantu bwe bayinza okukyewalamu n’okwekuuma.
Mu bubaka bwe eri palamenti olwa eggulo, sipiika Among ategeezezza nga bw’azze alaba abantu abakwatiddwa obulwadde buno mu mawulire nga n’abakwatibwa beeyongera buli olukya wabula nga minisitule tennavaayo kulambika bantu ku nsonga eno.
Omubaka Kivumbi Nga Alina Bye yeebuuza Ku Sipiika
Kino nno kiviriddeko ababaka okwemulugunya ku nkima eziyitiridde mu bitundu gye basula nga n’ezimu zijja ne zirya emmere yaabwe era omubaka w’e Butambala Muwanga Kivumbi agambye nti e Kira gy’asula bali ku bunkenke oluvannyuma lw’okuwulira ekirwadde kino ate nga enkima zisiiba mu maaka gaabwe nga ne bwe beekubira omulanga babagamba okuzifuuyira engombe zigende wabula nga kino tekiyamba.
Omubaka Wa Makindye Ssaabagabo David Sserukenya ategeezezza nga muwala we bw’apooca n’obulwadde buno wabula nga nabo tebamanyi butya bwe bayinza kwetangira okulemwa okubakwata ate nga n’enkima okuviira ddala mu 2022 ziremedde mu kitundu kyabwe.
Abamu Ku Babaka Mu Lutuula Lwa Palamenti Olw'eggulo.
Enos Asiimwe owa Kabula County yeewuunyiza ababaka okutandika okwogera ku nkima n ebazigata n’obulwadde bwa Mpox ne yeebuuza ebibiri bwe bikwatagana kubanga ye talina ky’amanyi, ekintu ekisesezza ababaka.
Omubaka wa Padyere County Isaac Otimgiw yasabye disitulikiti eziriraanye Congo nazo zirambikibwe ku ky’okukolebwa nga bwe gwali ku COVID 19 nti abantu bwe bawulira nti obulwadde buva ku nkima ate bajja kutta nzite nga kino nakyo kimenya amateeka.
Sipiika Among Ng'akubiriza Olutuula.
Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi Martin Mugara yagambye nti abantu be balumba enkima ne basaanyaawo ebibira wabula n’awakanya eky’okuba nti enkima za wano ze zireese obulwadde buno mu Uganda nti bonna ababufuna babujja ku bantu okuva mu mawanga amalala n’agamba nti abawulira nga tebasobola kubeera na nkima zino babategeeze bazikime.
Omubaka wa Busiro East, Medard Ssegona asabye minisitule okuli ey’oby’obulamu, ey’ensonga z’omunda mu ggwanga n’e ey’ebyobulambuzzi zonna okujja zirambike ku nsonga eno kubanga kizikakatako era sipiika Among alagidde alipoota ereetebwe ku Lwokubiri lwa wiiki ejja.