Ababaka abava mu Buganda bongedde okusimba ekkuuli ku mmwaanyi

Ababaka abava mu Buganda bongedde okusimbira eky’okuggyawo UCDA ekkuuli era bataddewo obukiiko bubiri obugenda okukulemberamu olutabaalo.

Muwanga Kivumbi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Ababaka abava mu Buganda bongedde okusimbira eky’okuggyawo UCDA ekkuuli era bataddewo obukiiko bubiri obugenda okukulemberamu olutabaalo.
Akakiiko akasooka kaweereddwa omulimu gw’okwanukula ebiwandiiko bya Pulezidenti Museveni bye yafulumizza ku nsonga y’okuggyawo UCDA, era nga kaliko abantu bana, okuli Patrick Nsamba Oshabe (Kassanda North) Lulume Bayiga (Buikwe South), Flavia Nabagabe (Mukazi/Kassanda) ne Muhammad Muwanga Kivumbi (Butambala).
Akakiiko akalala kagenda kwekenneenya ebbago erigendereddwaamu okuggyawo UCDA n’ekigendererwa eky’okwongera okufuna bwino gwe baneesigamako nga likomezeddwaawo mu Palamenti. Kano kaliko Yusuf Nsibambi (Mawokota South), Hanifa Nabukeera (Mukazi/Mukono), Richard Lumu ( Mityana South), ne Medard Lubega Ssegona (Busiro East).
Mu lukungaana lwa bannamawulire ababaka bano lwe baatuuzizza ku Palamenti eggulo, baagambye nti era baagala Sipiika wa Palamenti Anita Among yeetondere Obwakabaka bwa Buganda, olw’ebigambo bye bamulumiriza nti yabikozesa nga birengezza Abaganda.
Ssentebe w’akabondo kano Muwanga Kivumbi naye yavumiridde omubaka Mathias Mpuuga (Nyendo-Mukungwe) gwe yagambye nti akola kikyamu okuyitanga enkiiko ze ez’abamawulire n’ayogera ku mmwaanyi ate ng’ababaka abava mu Buganda baliko bye baalambise edda ku nsonga eyo, ekibaleetera obutatambulira wamu ate nga balina ekigendererwa kimu