ABAWAGIZI b’ekibiina kya NUP abasoba mu 30 abaakwatiddwa mu Mmande basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi William Muwonge owa kkooti ento e Kanyanya
ne basomerwa buli omu emisango esatu okuli; okulemesa abantu okukozesa ekkubo, okweyisa ng’ekitagasa n’okwonoona ebintu.
Abaavunaaniddwa kuliko; ababaka Nkunyingi Muwadda, Derrick Nyeko, Erias Ssemwogerere, Prossy Mukisa amanyiddwa nga Nabbosa, Farooq Ssekyanzi,
Joshua Magezi, Kakooza Kato, Olivia Nalweyiso, Alex Kyakwambala,Ronald Wasswa
n’abalala.
Kigambibwa nti abawawaabirwa emisango gino baagizza mu Mmande bwe baabadde bafuluma ekitebe ky’ekibiina ekisangibwa e Makerere- Kavule nga boolekera e Kawempe Ku Ttaano awaali wategekeddwa olukung’aana.
Abamu ku bavunaanibwa baalaze omulamuzi ebisango ebyabatuusiddwaako nga bakwatibwa n’ebirala ebyabatuusiddwaako mu kaduukulu gye baabade babasibidde.
Balooya b’abawawaabirwa nga bakulembeddwa omubaka Medard Lubega Ssegona baasabye omulamuzi abantu bano beeyimirirwe kubanga emisango egibavunaanibwa si gya nnaggomola gisobola okweyimirirwa. Ssengona mu kkooti alaze omulamuzi ebimu ku biwundu by’abawawaabirwa era n’asaba abakulira Poliisi okunoonyereza ku baakoze ebikolwa ebyekitujju ku bantu baabwe.
Abaakosebwa kubaddeko Prossy Mukisa eyalaze kkooti ebizigiro mu mugongo ebyavudde
ku kumukuba. Omulamuzi yakkirizza abawawaabirwa okweyimirirwa.