PALAMENTI ewadde minisita avunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti ebbanga lya sabbiiti bbiri okwebuuza ku kabbineeti bwe bayinza okugonjoola ensonga y’abaserikale abali ku maddaala agawansi ku musaala ogwabaweereddwa ogutamatizza.
Kyaddiridde omubaka Lutamaguzi Ssemakula (Nakaseke South) okutuusa okwemulugunya kw’abaserikale bano mu palamenti ku Lwokubiri nga bwe baweereddwa obusammambiro ate bakamabaabwe nebatwala ekisava.
Okukakkana nga palamenti eragidde minisita okuleeta sitatimenti ku nsonga eno ng’erambika emisaala egyo bwe gyagabanyiziddwa ne kwebasinzidde.
Minisita w’abakozi ba gavumenti Wilson Mukasa yategeezezza nti engeri omusaala ogwo gye gwagabiddwamu kyayisibwa kabbineeti mu kiteeso ekye 502 ne 509 mu 2017.
Ekyatabudde ababaka abategeezezza nti bo mukuyisa ssente z’okwongeza abaserikale mu bajjeti y’omwaka guno bakitwalira wamu nti bonna bongezebwe ebitundu 25 ku buli 100 so si kuteekawo kyekubira mu ngabanya.
Omusaala ogubatabudde gwe gw’akulira poliisi n’ogwakulira amakomera ogwalinyisiddwa okuva ku 6,800,000/= negudda ku 15,400,00/= ogwa amyuka akulira poliisi n’amyuka akulira amakomera okuva ku 6,700,000/= negudda ku 13,800,00/=
Mu 2017 minisita yannyonnyodde nti kabineeti yasalawo buli muserikale wa poliisi n’owamakomera ayongezebwe omusaala ebitundu 40 ku buli 100 okuggyako akulira poliisi, akulira amagye n’abamyuka baabwe ogwabwe bakkiriziganya gulinyisibwe ku bitundu 77 ku buli 100 kubanga offiisi zaabwe ze zokka ezogerwako mu tteeka lya Salaries and Allowances Act, 1999.
N’olwesonga eyo nasambaja ebigambibwa nti babongezza ebitundu 25 ku buli 100 era natangaaza nti buli omu omusaala ogwamuweereddwa tebasinzidde ku ssente z’abadde afuna wabula basinzidde ku nsengeka ye misaala gyabwe eyali yakaanyizibwako mu 2017.
Ku kino omubaka Medard Lubega Ssegona (Busiro East) yasabye basooke baweebwe omukisa abakulu bano bayitibwe mu kakiiko , minisitule evunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti wamu n’abaserikale ku madaala ga wansi bayitibwe wabeerewo okunoonyereza okwenjawulo.