OMUBAKA Mathias Mpuuga (Nyendo- Mukungwe) yatongozza ekisinde kye yatuumye Democratic Allience ku Lwokutaano. Wabula ababaka ba Palamenti abamu be yava nabo ewa Bobi Wine tebaalabiseeko, ekireeseewo ebibuuzo.
Mpuuga (owookubiri Ku Kkono) Ng'assa Omukono Ku Kiwandiiko.
Abategesi b’omukolo guno okwabadde; Ssentebe Samuel Lubega Mukaaku ne Micheal Mabikke Ssenninde aba DP Bloc, baasoose kulangirira nga bwe balina ababaka ba Palamenti 15 n’ebikonge bya bannabyabufuzi abanene mu ggwanga be batambula nabo era omukolo gugenda kuba ‘masavu’ ng’enjogera y’ennaku zino bweri.
Kyokka ku mukolo guno ogwategekeddwa ku Maribu Gardens ewa Bakuli mu Kampala, ababaka babiri bokka okuli Dr. Abed Bwanika (Kimanya Kabonera) ne Juliet Kakande (Masaka City) be bokka abaalabiseeko.
Omubaka Medard Sseggona (Busiro East), omu ku baabadde basuubirwa okuba omusaale ku mukolo guno teyalabiseeko, wabula bwe yabuuziddwa Bukedde yannyonnyodde nti yabadde n’obuvunaanyizibwa obulala obwenjawulo nti naye byonna ebyakoleddwa abiwagira era ali nabo.
Alien Skin Ng'abuuza Ku Mpuuga.
“Omukago oguyamba okuggyawo enfuga enyigiriza abantu nguwagira bulungi era abagukulembedde bonna mbawagira bagende mu maaso, ” Ssegona bwe yagambye n’ategeeza nti eky’obutabaawo si kikulu.
Yajulizza essuula mu Bayibuli egamba nti oyo atalwana naffe ali naffe. Nti Mpuuga by’akola bigenderera kuyamba kununula ggwanga era amuwagira.
Sseggona ne Mpuuga baludde nga batambulira wamu mu byobufuzi okuviira ddala mu DP ate bwe baali tebannabiyingira, baaweereza bombi e Mmengo.
Ababaka ba NUP abalala abaabadde basuubirwa ku mukolo abaludde nga batambula ne Mpuuga okuli Joyce Baagala Ntwatwa (Mukazi Mityana), Michael Kakembo Mbwatekamwa (Ntebe Minicipality) n’abalala abamu baategeezezza nti ekiseera kye kyabalemesezza kuba baabadde Kenya mu mizannyo gy’ababaka ba Palamenti abava mu mawanga agakola omukago ga East Africa.
Omukolo gwetabiddwaako omuyimbi Patrick Mulwana amanyiddwa nga Alien Skin era n’assa omukono ku ndagaano y’okukolagana nabo.
Bwe yaweereddwa akazindaalo okubaako by’ayogera yasobedde abamu bwe yatandise okwewaana nga bwe baamuvunaana okubba akasimu ate kamiisona Mpuuga baamuvunaana gwa kwekomya obukadde 500 n’awunzika ng’agamba nti empisa zaabwe zifaanagana era bajja kukwatagana.
Ebigambo bya Alien buli omu yabitapuse bubwe ng’abamu bagamba nti yabadde ategeeza nti oluusi abantu bavunaanibwa emisango gye batazzizza ate abalala ne bakitwala nti yabadde ali mu njogera egamba nti, ‘Mbuulira gw’oyita naye, nkubuulire empisa zo.”