Bakubye ebituli mu ndagaano NIRA gye yakola ne kkampuni ya Bagirimaani

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti aka COSASE bakubye ebituli mu ndagaano egambibwa okukolebwa wakati w’ekitongole kya NIRA ne kkampuni ya Germany eya Uganda Security Printing Company

Bakubye ebituli mu ndagaano NIRA gye yakola ne kkampuni ya Bagirimaani
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision
#Amawulire #Palamenti #NIRA #Germany technology #Babaka #Medard Lubega Sseggona

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti aka COSASE bakubye ebituli mu ndagaano egambibwa okukolebwa wakati w’ekitongole kya NIRA ne kkampuni ya Germany eya Uganda Security Printing Company okufulumya endagamuntu bwe bazudde nti ebiwandiiko ebyaweebwayo kkampuni eno okukola omulimu byali tebituukiridde.

Ssentebe Ssegona (mu Maaso) N'akakiiko Ku Ddyo Nga Basisinkanye Aba Nira (ku Kkono).

Ssentebe Ssegona (mu Maaso) N'akakiiko Ku Ddyo Nga Basisinkanye Aba Nira (ku Kkono).

Bano okutuuka ku kino kiddiridde akulira eby’amateeka mu NIRA, Winnie Kabeije okwanjulira akakiiko kano ebiwandiiko ebikwata ku ndagaano gye baakola ne kkampuni eno mu 2018 nga bali wamu ne minisitule y’ebyensimbi okulaba nga ewa obukuumi olw’ebyo ebifulumizibwa nga tebitaataaganyiziddwa yadde okubbibwa wabula nga bino tekubadde yadde omukono gw’omuntu yenna kyokka nga kontulakiti yali nsava.

Ababaka okubadde ow’e Buzaaya- Martin Muzaale, Richard Muhumuza ow’e Bwamba kwossa Allan Mayanja owa Nakaseke Central beewuunyizza butya NIRA bwe yeewaayo n’etuuka n’okubaleetera ebiwandiiko ebitatuukiridde ng’ate kontulakiti eyogerwako eri mu buwumbi.

Aba NIRA nga bakulembeddwa ajikulira, Rosemary Kisembo babadde balabiseeko nate mu kakiiko kano okunnyonnyola ku mivuyo egyalabikira mu lipooti ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka gw’ebyensimbi 2022/23.

 

Muno baalemererwa okukung’aanya obuwumbi 15 mu musolo gwa NTR (Non- Tax Revenue) olw’okuba nga tekinologiya (software) gwe baali bakozesa, kkampuni y’omu Girimaani yagaana okubawa obwannannyini okugyeyambisa nga bo.

Kisembo era ategeezezza akakiiko nti endagaano yawa nnyo ebbeetu kkampuni engwira okufulumya ebiwandiiko okuli passport, Visa stickers, birth and death stickers, government financial security documents, check books and bonds, Police/ security clearance forms, election materials, driving permits, national IDs ne NSSF cards.

Agambye nti baabasasulako obuwumbi 18 n’obukadde 300 mu June wa 2024 nga zino ziri ebitundu 30 ku buwumbi 60 bwe baalina okubawa era baawandiikira dda ssaabawolereza wa gavumenti naye nga tannabaanukula ku nsonga eno.