MUNNAMAWULIRE wa NRM, Rogers Mulindwa, Pulezidenti Museveni amuyiyeemu kapyata n’asekerera ab’oludda oluvuganya ababadde bamuyeeya nti wadde akuba endere, talina ky’afunye mu NRM.
Kapyata eno ekika kya Toyota Landcruiser V8, Mulindwa yamukwasiddwa kaminsona wa Mwoyo gwa ggwanga, Hellen Seku ku mukolo ogwabadde ku ofiisi ze e Muyenga.
Mulindwa ng’abugaanye essanyu, yeebazizza Pulezidenti olw’okusiima emirimu gy’akolera NRM okuviira ddala mu 2014 lwe yaagyegattako.
“Abantu oluusi tebasiima, naye bwe mba nsiimiddwa Pulezidenti, nange nsiimye era ng’enda kwongera amaanyi mu mirimu gy’ekibiina,” Mulindwa bwe yategeezezza.
Seku yagambye nti, akola obulungi asiimwa nga ye nsonga lwaki Pulezidenti yasiimye Mulindwa olw’ebirungi byakoledde NRM n’okwolesa omwoyo gw’eggwanga